Amawulire

Pulezidenti ne Minisita w’ebyenjigiriza omukolo gw’amatikkira g’e Makerere bagwetabiddeko ku mutimbagano

Pulezidenti Museveni ne mukyalawe era Minisita w’ebyenjigiriza, Janet Museveni amatikkira ga Makerere University  agoomulundi ogwa 72, bagetabiddeko nga bali ku zoom oba guyite omutimbagano mu maka g’Obwapulezidenti e Nakasero.

Pulezidenti ye Mugenyi ow’enjawulo owa yunivasite za Gavumenti era bulijjo y’abeera omugenyi omukulu ng’agendayo butereevu ng’amatendekero gatikkira kyokka ku mulundi guno tasobodde nga bino birangiriddwa akulira ebyamawulire mu maka ‘Obwapulezidenti, Lindah Nabusayi Wamboka ng’asinziira ku mukutu gwe ogwa Twitter.

Amatikkira ga Makerere University ag’omwaka guno gaakumala ennaku ttaano nga gatandise leero nga May 23, gaggwe ku Lwokutaano nga May 27.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top