Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni asabye bannakibiina kye okuteeka ku bbali obutakkaanya bwebalina basobole okuwangula obululu obutegekeddwa.
Bino Pulezidenti Museveni abyogeredde mu nsisinkano gyabaddemu e Ntungamo n’abakulu mu kibiina okubadde omumyuka Asooka owa Ssentebe, Alhaji Moses Kigongo, Ssaabawandiisi w’ekibiina, Richard Twodong, Ssentebe w’ekibiina e Buvanjuba, Capt. Mike Mukula ne ssentebe w’akakiiko k’ekibiina ak’okulonda , Dr. Tanga Odoi awamu n’amyuka Pulezidenti Maj. (Rtd) Jessica Alupo.
Olukung’aana luno lutadde essira ku bagenda okukwatira ekibiina bbendera mu bitundu awali akalulu akagenda okuddibwamu okulaba nti bakawangula.
Pulezidenti Museveni bano abasabye okulaba nti abaweebwa bbendera balondebwamu mu ngeri esaanidde beewale okwawula mu kibiina basobole okuwangula akalulu kuba obuwagizi babulina mu bantu.
Ssaabawandiisi w’ekibiina Richard Twodong asinzidde wano nayanjula Herbert Ariko Edmond nga alina bbendera y’ekibiina okuvuganya ku kifo ky’omubaka wa Soroti East Divizoni era nga ono bamukaanyako nga abakulembeze b’ekibiina mu Soroti.
Pulezidenti Museveni yajjukiza abakulembeze ku maanyi ekibiina kyegalina nabasaba okugakuuma.