Amawulire

Minisita Ssekabembe yatongozza obukiiko obugenda okuwulira okwemulugunya mu mpaka ez’enjawulo n’okukwasisa empisa.

Minisita avunaanyizibwa ku bavubuka, ebyemizannyo n’Okwewummuza mu Buganda, Owek. Henry Ssekabembe Kiberu yatongozza obukiiko bubiri obugenda okuwulira  okwemulugunya ku mpaka z’omupiira mu Buganda  awamu nakakwasisa empisa okusobola okuteekawo obwenkanya wamu n’okunyweza omutindo gw’empaka zino.

Owek. Ssekabembe obukiiko buno yabutongoleza mu Bulange e Mmengo ku Mmande mu lukung’aana lwa bannamawulire nagamba nti buno bwakuyamba ku mpaka nga Ebika, Amasaza awamu n’ekikopo ky’ Amasomero okulaba nti wabaawo obwenkanya ku njuyi ez’enjawulo.

“Tutaddewo obukiiko bubiri okulondoola , okwekeneenya wamu n’okuwuliriza okwemulugunya n’emisango egy’enjawulo mu mpaka z’emipiira egy’enjawulo egitegekebwa Obwakabaka bwa Buganda. Tufunye abantu abatuufu betukakasa nti bajja kuyamba omupiira okulaakulana mu Buganda,” Owek. Ssekabembe bweyannyonnyodde.

Akakiiko akajulirwamu kagenda kulirwa avunaanyizibwa ku by’omutindo n’okuvuganya mu FUFA, Aisha Nalule, amyukibwe Omutaka Magoba, omuwandiisi waako ye Haruna Kyobe ate bammemba baako kuliko  Brian Miiro Nsubuga ne  Haruna Mawanda

Okusinziira ku Minisita Ssekabembe akakiiko akagenda okusooka okutunula mu nsonga ke ka  munnamateeka Twaha Mukasa era akulira akakiiko akakwasisa empisa mu badiifiri  akatondebwawo ekibiina ekifuga omupiira mu ggwanga ki FUFA.

Munnamateeka Mukasa agenda kumyukibwa Frank Kyazze, Frank Kyazze ye muwandiisi ate Denis Batte ne Ediriisa Sserubiri bammemba.

Mukasa yeebazizza obuvunaanyizibwa obumuweereddwa nakakasa nti nga akolaganira wamu ne banne  bakuteekawo obwenkanya nga bataputa amateeka agafuga omupiira.

 

 

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top