Amawulire

Museveni yalagidde abasomesa okudda mu bibiina basomese.

Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni yalagidde abasomesa ba Arts okudda mu bibiina basomese abaana b’eggwanga nga gavumenti bwekola ku nsonga zaabwe.

Amagezi gano Pulezidenti Museveni yagabawadde ku Mmande mu nsisinkano gyabaddemu n’ababakulira abeegattira mu kibiina ki UNATU yategeezezza nti wadde bano baagala gavumenti ekozese ssente eziriwo okubongeza emisaala naye tekisobola  era tekigenda kumalawo kizibu kino.

“Tulina enteekateeka era tewali agenda kututaataaganya . Ensonga yammwe tugimanyi era tugenda kugikolako. Amagezi gembawa muddeyo mu kibiina musomese,” Pulezidenti Museveni bweyategeezezza abasomesa.

Museveni yategeezezza abasomesa bano nti babalaga webayimiridde nga gavumenti ku nsonga eno nakakasa nti bajja kubongera ssente naye balina kusooka basomesa Saayansi naye tekitegeeza nti abasomesa amasomo ga ‘Arts’ oba abakozi abalala banaaba beerabiddwa.

Onoyategeezezza nti basazeewo okusookako abatono nga abalala bajja kugobererwa kuba y’engeri yokka gyebasobola okumalawo ekizibu kino.

Wano weyasinzidde nalagira abasomesa okudda mu bibiina nga gavumenti bwekola ku nteekateeka era tasuubira muntu yenna kugezaako kugicankalanya.

Oluvannyuma abasomesa bano bayingidde mu lukiiko olulala olwabwe okusalawo eky’enkomeredde ku nsonga eno.

Bino webijidde nga abasomesa ba ‘Arts’ bagenda kuweza mwezi mulamba nga beeremye okudda mu bibiina nga bawakanya gavumenti okwongeza abasomesa ba Saayansi ssente z’omusaala bo nebatabafaako.

Era Ssaabawandiisi w’ekibiina ki UNATU, Filbert Baguma abadde akyakalambidde nti  tebagenda kutiisibwatiisibwa ku nsonga eno era nga sibeetegefu kusazaamu keediimo kano okutuusa nga gavumenti ebongeza omusaala.

 

 

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top