Amawulire

KITALO! Abantu 9 bebafiiridde mu kabenje , abalala bataawa

Abantu 9 bebafiiridde mu kabenje ate abalala 5 nebafuna ebisago ebyamaanyi ku Lwomukaago  e Luweero ku luguudo olubva e Kampala okudda e Gulu.

Omwogezi wa poliisi y’ebidduka mu ggwanga, Faridah Nampiima yagambye nti akabenje kano kagudde ku kyalo Sinalya, Kalule mu disitulikiti ye Luweero.

Okusinziira ku Nampiima, takisi nnamba UBD 850J eyabadde ewenyuka obuweewo yatomeraganye ne  Isuzu Elf, UAH 316P oluvannyuma lw’okwabika omupiira neremerera ddereeva waayo olwo neyeefuula ng’eno gyeyasanze Isuzu Elf.

Nampiima yannyonnyodde nti Takisi bweyatomedde Isuzu nayo yeefudde okukkakana nga abantu ababadde mu takisi 8 bafiiriddewo ate omulala naddusibwa nga atwalibwa mu ddwaliro e Mulago.

Okusinziira ku poliisi abantu abawerako bafiiridde mu bubenje omwaka guno era wazzeewo okutya kuba omuwendo gweyongera buli kaseera.

Alipoota ziraga nti abantu 10 bebafiira mu bubenje buli lunaku nga omuwendo guno gwegusinga okubeera waggulu mu East Africa.

Wadde abamu bakitadde ku nguudo ezikolebwa mu ngeri embi naye ab’obuyinza bakiteeka ku kuvugisa kimama awamu n’endiima nga bwekyabadde mu kabenje kano akagudde e Luweero.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top