Ebyobufuzi

President Museveni akungubagidde eyali pulezidenti wa Angola Dos Santos

Museveni akungubagidde eyali Pulezidenti wa Angola, Jose Eduard Dos Santos eyafudde ku Lwokutaano e Spain (Barcelona) ku myaka 79, n’amutendereza okuba omukulembeze alengerera ewala.

N’ennaku nnyingi, nkungubagira Pulezidenti Jose Eduard Dos Santos eyali pulezidenti wa Angola. Ntuusa okusaasira kwange eri Pulezidenti Joao Lourenco akulembera ensi eyo mu kaseera kano ,eri famire ya Santos n’eri bannansi ba Angola olw’okufirwa omuntu wammwe.

Presidenti Jose Eduard Dos Santos

Bye yakola bijja kusigalawo okumala ebbaga ppanvu,yali mukulembeze omuteesa ate ng’alengerera wala era ajja kwogerwako mu biseera byaffe nti yaliwo. Mukama amuwummuze mirembe Museveni bye yawandiise ku mukutu gwe ogwa twitter.

Eri Pulezidenti Joao Lourenco

Dos Santo yafiiridde mu ddwaaliro lya Teknon Clinic erisangibwa mu kibuga Barcelona e Spain, gy’abadde ajjanjabirwa okumala ebbanga,nga gavumenti y’e Angola yalangiridde ennaku ttaano okukungubagira omugenzi okutuusa lw’anaaziikibwa

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top