Amawulire

NUP eyajudde ekifo kyebaguze webagenda okuzimba ekitebe kyabwe e Makerere Kavule.

Bannakibiina ki  National Unity Platform (NUP)  banjulidde eggwanga  ekifo kyebaguze nga wano webagenda okuzimba ekitebe kyabwe e Makerere – Kavule mu Divizoni ye Kampala.

Enkya ya leero ku Lwokubiri bano batemye evvunike  era nebalaga bannamawulire Pulaani y’ekizimbe galikwoleka eziraga woofiisi zabwe bwezigenda okufaanana.

Bw’abadde ayogerako eri bannamawulire ku mukolo guno, omwogezi w’ekibiina kino Joel Ssenyonyi agambye nti e Kamwokya webabadde wabadde watono  kuba ezibiina kikuze.

“Ebiseera ebisinga bwetubeera nemikolo eminene, tutataaganya Pulezidenti waffe Kyagulanyi otukkiriza okukozesa oluggya lwe kuba lugazi. Oluvannyuma lw’ akaseera tusobodde okusonda ssente netufuna ekifo kino era ekitebe kyaffe kigenda kubeera wano,”  Ssenyonyi bw’agambye.

Okusinziira ku Ssenyonyi bakusigala nga bakolera e Kamwokya okutuuka nga woofiisi empya zebagenda okuzimba ziwedde nagattako nti nemukiseera nga ekizimbe ekiggya kiwedde bajja kusigala nga baliko emirimu gy’ ekibiina gyebakolera e Kamwokya ng’okutendekalayo abantu babwe.

Ye akulira oludda oluvuganya gavumenti alaze essanyu olw’okuba ekibiina kifunye woofiisi ey’enkalakalira era ne bannayuganda bakimanyi kati nti okulwanirira enkyukakyuka si kwakiseera buseera.

Pulezidenti w’ekibiina kino ategeezezza nti kino kabonero akalaga nti ekibiina ki NUP tekirina gyekiriga era abaali bakiyita omuyaga bagwana okuddamu balowooze.

Okuva ekibiina kino lwe kyatongozebwa kibadde kikozesa kifo kya Robert Kyagulanyi Ssentamu nga woofiisi z’ekibiina.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top