Amawulire

Batabukidde Mao ku by’okwegatta ne NRM, azizza omuliro

Bannayuganda ab’enjawulo bavuddeyo nebakolokota Ssenkaggale w’ekibiina ki Democratic Party (DP), olw’endagaano gyeyakoze ne Ssentebe w’ekibiina ki National Resistance Movement (NRM), Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni okukolera awamu batwale eggwanga mu maaso.

Ssaabawandiisi w’ekibiina ki National Unity Platform (NUP), David Lewis Rubongoya yayise ku mutimbagano nagamba nti, “Okwebuzaabuza kukomye, kino kinnyonnyola olutalo lwabadde yaggula ku NUP.”

Eyaliko Pulezidenti w’ekibiina ki Forum for Democratic Change, Dr Kizza Besigye yasinzidde ku mutimbagano nategeeza nti, “Hmmn Kale Bye!” so nga Omuloodi wa Kampala, Erias Lukwago yagambye nti, “Kitalo nnyo, yazaalibwa 1954 na………”

Ate akulira ekibiina ki DP mu disitulikiti ye Buikwe, Dr  Lulume Bayiga ategeezezza nti eby’okwegatta ku NRM ebyakoleddwa Mao ne Ssaabawandiisi Gerald Siranda babyekangidde mu mawulire nawera nti singa anagezaako okubiguza olukiiko olufuzi olw’ekibiina bakuggyayo amaanyi gonna okumulemesa.

Abantu abalala bangi bayise ku mutimbagano okutegeeza nga Mao bw’abadde aludde nga akolagana ne Museveni nga ekikyuuse kyokka kyakuvaayo nakiteeka mu lwatu.

Abamu kino bakisanyukidde nga bagamba nti Mao abadde akeereyesa olutalo lw’okwetakkuluza ku Pulezidenti Museveni era tekyewunyisa nti abadde amuwolereza entakera ate nakolokota banne bwebali ku ludda olumu.

Wabula Mao ategeezezza  nti ye tagenda kubeera nga abakulembeze b’ebibiina abalala abeefuula abatakolagana na gavumenti ate nga bakukuta nayo,  Mao awadde ekky’okulabirako kya Col. Kizza Besigye eyali akukuta ne Museveni kyokka mu bantu nga alaga nga bwatasobola kutuula na Museveni.

Ono agamba nti NUP eriwo mu bukyamu era gavumenti yagirekawo kuba ekimanyi nti ekolerayo.

Mao agamba nti tewali kikyamu kulabika nga ali ne Pulezidenti Museveni kuba  abadde yeetaba n’abakulembeze ab’enjawulo mu ggwanga nasaba bannayuganda  okukyuusa endowooza zaabwe kuba okukolagana ne gavumenti ssi musango.

Ensonga ya Mao ewagiddwa munnamateeka Edgar Tabaro ategeezezza nti Mao ekkubo akutte ddungi era kijja kuyamba okukyuusa endowooza z’abantu abalowooza nti oli bwabeera ku ludda oluvuganya talina kukolagana wadde okuwuliza abali mu gavumenti.

 

 

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top