Amawulire

Nnaabagereka yasabye abazadde bayambe abaana okutuukiriza ebirooto byabwe.

Nnaabagereka Sylvia Nagginda yasabye abazadde wonna mu ggwanga okuyambako abaana babwe okutuukiriza ebirooto byabwe kibayambe okufuuka abantu abalimu ensa era abasobola okulaakulanya eggwanga.

Obubaka buno Nnaabagereka Nagginda yabuweeredde ku mukolo gw’okutongoza Ekisaakaate Gatonnya 2023, nga bumusomeddwa Minisita avunaanyizibwa ku woofiisi ya Nnaabagereka Dr. Prosperous Nankindu Kavuma mu bimuli bya Bulange ku Lwokusatu.

Nnaabagereka yategeezezza nti singa abazadde bavaayo nebakwasiza ku baana babwe kijja kubeera kyangu okutuukiriza ebirooto byabwe.

Ono yannyonnyoddde nti omulundi guno essira balitadde ku kuzuula obusobozi bw’abaana n’ettofaali lyebasobola okuteeka ku ggwanga mu ngeri y’okulikulaakulanya.

Okusinziira ku Minisita Nankindu Ekisaakaate ky’omwaka 2023 kigenda kuyindira ku ssomero lya Muzza High  School erisangibwa e Kabembe – Mukono mu ssaza Kyaggwe.

Ssenkulu wa wekitongole ki Nnaabagereka Development Foundation, Omuk. Andrew Adrian Mukiibi,  annyonyodde nti  ebimu ku biruubirirwa byabwe ku mulundi guno kwekubudaabudda abaana abalabika nga bakosebwa omugalo ate nokuvumbula ebitone byebalina.

Ku mulundi guno Ekisaakaate kya kutambulira wansi w’omulamwa gwo ‘ Okuttukiza obusobozi obukusike ku lw’ okwekulaakulanya.’nga kyakuva nga 05 – 21 Gatonnya (January) 2023.

Akulira eby’enkulaakulana ya Bizineensi mu bbanka ya Finance Trust Bank, Paul Lubega Pacy yeebazizza Nnaabagereka olw’okukkiriza babeere abamu ku bavujirizi b’ Ekisaakaate ky’omwaka guno.

 

 

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top
// Infinite Scroll $('.infinite-content').infinitescroll({ navSelector: ".nav-links", nextSelector: ".nav-links a:first", itemSelector: ".infinite-post", loading: { msgText: "Loading more posts...", finishedMsg: "Sorry, no more posts" }, errorCallback: function(){ $(".inf-more-but").css("display", "none") } }); $(window).unbind('.infscr'); $(".inf-more-but").click(function(){ $('.infinite-content').infinitescroll('retrieve'); return false; }); if ($('.nav-links a').length) { $('.inf-more-but').css('display','inline-block'); } else { $('.inf-more-but').css('display','none'); } // The slider being synced must be initialized first $('.post-gallery-bot').flexslider({ animation: "slide", controlNav: false, animationLoop: true, slideshow: false, itemWidth: 80, itemMargin: 10, asNavFor: '.post-gallery-top' }); $('.post-gallery-top').flexslider({ animation: "fade", controlNav: false, animationLoop: true, slideshow: false, prevText: "<", nextText: ">", sync: ".post-gallery-bot" }); });