Sipiika wa Palamenti, Anita Among alabudde ababaka ba Palamenti ku bukunzi bwebatandise okutondawo kyagamba nti kigenda kuleetawo enjawukana nokukozimbya emirimu.
Bino Sipiika Among yabyogeredde mu kutongoza enteekateeka gyeyatuumye ‘Meet Your Speaker’ egendereddwamu okwongera enkolagana wakati w’abakozi ba Palamenti, ababaka ne Sipiika.
Ensisinkano zino zigendereddwamu okwongera omutima ogukola mu bakozi basobole okwongera okuganyula bannayuganda.
Okusinziira ku Sipiika Kadaga abakozi n’ababaka tebasaanye kweyingiza mu njawukana za byabufuzi nga bakola emirimu gya Palamenti.
“ Mu Palamenti eno, ffenna twenkana tewali ali waggulu wa munne. Tulina kukolagana bulungi netutuukiriza obuvunaanyizibwa bwaffe, tweyawule ku kukola obukuukulu tutwale emirimu mu maaso,” Sipiika Among bw’agambye.
Sipika Among asabye abakozi mu Palamenti bakole n’obumalirivu bwonna baleme kwekulembeza naye bakimanye nti Palamenti gyebakolera kyekifananyi kya Uganda yonna.
Ye Kalaani wa Palamenti, Adolf Mwesige, ategeezezza nti enteekateeka eno yaleeteddwa Palamenti okusobola okwanguya emirimu.
Ono asabye abakozi mu Palamenti okuwaayo obudde nga bakola okusobola okutuukiriza obuvunaanyizibwa n’ebigendererwa bya Palamenti eno.