Amawulire

Aboludda oluvuganya gavumenti bakkaanyiza okukolera awamu.

Abanene ku ludda oluvuganya gavumenti okuli Dr. Kizza Besigye, Asuman Basaalirwa, Robert Kyagulanyi Ssentamu n’abalala bakkaanyiza okukolera awamu balwanyise ebikolwa by’okubba akalulu ebyeyambisibwa gavumenti  okwenywereza mu buyinza.

Bano okutabukira gavumenti basisinkanye ku Hotel Africana ku Mmande era batadde omukono ku kiwandiiko ekivumirira okubba obululu buli kulonda lwekubaayo.

Akulira ekibiina ki National Unity Platform, Robert Kyagulanyi Ssentamu agamba nti buli lwebayingira akalulu bamaliriza beesonze akalala ekiwa ekifananyi ekikyamu eri bannansi  era nebamaliriza nga bagudde mu katego ka Pulezidenti Museveni.

“Tetusobola kwefuula batakimanyi nti Pulezidenti Museveni ategeka akalulu nga alinga agenda mu lutalo nga alina buli kyakulwanyisa nga bwekyali mu kalulu ka 2021, Kayunga, Omoro, Soroti awamu n’awalala. Ekiseera kituuse tukyuuse obukodyo  n’enjiri abantu tubasabe berwaneko ku mitendera gyonna,” Kyagulanyi bw’agambye.

Kyagulanyi asinzidde wano nasaba bakulembeze banne mu bibiina by’obufuzi okukyuusa enjiri gyebawa bannayuganda nga wonna ku mitendera balina kubanja kwenunula  beegobeko Pulezidenti Museveni nga bakozesa buli mukisa ogubeeyoleka.

Ono agasseeko nti akalulu konna kebayingiramu balina kunoonya muwaatwa kugoba Pulezidenti Museveni era beegatte okutuukira ddala ku muntu asembayo kuba buli lwebavaayo okwelwanyisa banguyiza Pulezidenti Museveni omulimu gw’okusigala nga abakulembera.

Ye akulira ekisinde, Peoples’ Front for Transition (PFT), Dr Kizza Besigye  agamba nti ekimu ku bizibu bannayuganda byebasinga okubeera nabyo kwekuba nti tebalina ddoboozi lyonna ku ngeri eggwanga lyabwe gyeritambuzibwamu nga n’abakulembeze abali mu bifo ebikulu mu gavumenti tebalina buyinza bwonna.

Dr. Besigye agamba nti embeera tejja kukyuuka okutuusa nga obuyinza buvudde mu ngalo zabo ababuwamba kuba kizuuse nti akalulu tekasobola kukyuusa buyinza oba bakwate ekkubo lya Mao bateese ne gavumenti naye nakino takirabamu ssuubi.

“Ffe tulowooza nti akalulu tetugenda kukkiriza kagende mu maaso bwekati nga balimba bannansi nab’ebweru, bwetuba tugenda mukalulu kati kubuulira bantu abaliyo ku ngeri gyebasobola okununulamu obuyinza bwabwe.

“Bwetuba twegasse netusalawo nga eggwanga nti tetukyatambula nakino, Mwami Museveni wakoma, bwobba akalulu tobba bantu basigalayo singa tugamba abantu bemwalaba e Soroti nti tutambule, bajja kusituka,” Dr. Besigye bw’annyonnyodde.

Besigye agamba nti ebintu gavumenti ya Museveni byeyasangawo nga akutte obuyinza yabigabana ne banne nebabitwala nga kati akatono kasolooza mu misolo nako akakozesa nga bw’ayagala nga kino kirina okusalirwa eddagala.

Ono asabye beegatte nga abakulembeze wamu ne bannayuganda okusobola okuleetawo enkyukakyuka bannansi gyebayaayaanira.

Amyuka Pulezidenti w’ekibiina ki FDC, Erias Lukwago ategeezezza nti ekyabadde e Soroti tekyogerekeka kuba abantu babwe bakwatibwa nebaggalirwa awatali musango  era tewali musango gwebaggulwako kyokka embeera eno  yasukka ku lunaku lw’akalulu era akalulu kabbibwa.

Pulezidenti wa JEEMA, Asuman Basaalirwa ategeezezza nti gavumenti ya NRM kati kyekola kwekusosonkereza bannayuganda buli lwewabaayo akalulu nga kino kyekyali e Kayunga, Omoro ne Soroti.

Kati ekirindiriddwa kwekulaba oba bannabyabufuzi n’ebibiina by’obufuzi binasobola okukolera awamu nga bwebisuubizza kuba emikago gino gizze gibaawo.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top
// Infinite Scroll $('.infinite-content').infinitescroll({ navSelector: ".nav-links", nextSelector: ".nav-links a:first", itemSelector: ".infinite-post", loading: { msgText: "Loading more posts...", finishedMsg: "Sorry, no more posts" }, errorCallback: function(){ $(".inf-more-but").css("display", "none") } }); $(window).unbind('.infscr'); $(".inf-more-but").click(function(){ $('.infinite-content').infinitescroll('retrieve'); return false; }); if ($('.nav-links a').length) { $('.inf-more-but').css('display','inline-block'); } else { $('.inf-more-but').css('display','none'); } // The slider being synced must be initialized first $('.post-gallery-bot').flexslider({ animation: "slide", controlNav: false, animationLoop: true, slideshow: false, itemWidth: 80, itemMargin: 10, asNavFor: '.post-gallery-top' }); $('.post-gallery-top').flexslider({ animation: "fade", controlNav: false, animationLoop: true, slideshow: false, prevText: "<", nextText: ">", sync: ".post-gallery-bot" }); });