Minisita Omubeezi ow’eby’obulimi ,obwegassi n’obusuubuzi, Hajj Amisi Kakomo asabye Bannayuganda okukomya okwewolanga ensimbi okuva mu bibiina mwebatereka kyokka ne zitakola ebyo kwebasinzira okuzeewola.
Yabadde mugenyi mukulu mu ttabamiruka wa Bannakibiina kya Pewosa Eyeterekera Cooperative Society n’agamba nti bangi bewoola ssente ate ne badda mu kuzikolamu emikolo ng’okwanjula n’embaga ate abalala nebaziteeka mu kumaliriza ebizibu by’abenganda zaabwe abajja nga babakabirira.
Hajj Kakomo Ali ku ddyo ng’akwasa Bbaale Mugera ekirabo ekimusiima emirimu
Hajj Kakomo yeebazizza abakulira ekitavu kino olw’okukyagaza abantu okukijjumbira nga wetwogerera kirina bammemba 13018.
Vicent Bbaale Mugera nga y’abadde Ssentebe w’ekibiina kino okuva March 18,2015 yebazizza Bammemba olw’enkolagana ennungi gyebabadde nayo neyebaza n’ekirabo ekyamuwereddwa era ono obukulembeze yabukwasiza Jossy B. Etuusa okutwala ekibiina kino mu maaso.
Bboodi ya Pewosa empya ng’eri mu kifananyi n’abakozi b’ekitongole kino
Ishaac Ssebulime nga ofiisa avunanyizibwa ku by’obwegassi mu minisitule y’obusuubuzi,amakkolero n’obwegassi mu Uganda yekokkodde bammemba