Ebyobufuzi

Gen Elly Tumwine afiiridde e Nairobi

Eyaliko Minisita w’obutebenkenvu n’ebyokwerinda era munnansiko, Gen Elly Tumwine afiiridde mu ddwaliro lya Aga Khan e Nairobi ku myaka 68.

Gen Tumwine yaddusibwa mu ddwaliro lino e Nairobi mu Kenya oluvannyuma lw’embeera ye okutabuka nga kino kyava ku kirwadde kya kkansa ekibadde kimutawaanya okumala akaseera.

Tumwine y’omu kwabo 47 abasookera ddala mu nsiko  n’emmundu 27 era nebalumba enkambi y’amajje ga Milton Obote eyali e Kabamba mu lutalo olwamala emyaka 5 okutuusa NRA lweyakwata obuyinza mu 1986.

Ono yasooka kubeera musomesa mu 1978 gyeyava okwegatta ku ba FRONASA abaali bakulirwa Yoweri Museveni.

Oluvannyuma lwa Obote okukwata mu kalulu ka 1980, Museveni yayogereza Tumwine n’ abalala mu 1981 nebaggula olutalo ku  bukulembeze bwa Obote.

Tumwine yaliko omudduumizi w’eggye ly’ eggwanga okutuuka mu 1987 lweyasikirwa Gen. Salim Saleh.

Mu 2005 yakuzibwa natuuka ku ddaala lya Genero era nafuulibwa ssentebe w’ akakiiko akalamula kkooti y’amagye.

Tumwine era yaliko Minisita omubeezi ow’ebyokwerinda mu 1989, yaliko akulira ekitongole ekikessi ekya ESO era nabeerako n’omuwi w’amagezi eri Pulezidenti ku nsonga z’ebyokwerinda.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top