Amawulire

Kenya: Ruto alinze kulayira

Ssaabalamuzi wa Kenya, Martha Koome assizza kimu ne banne nti omusang too gw’ab’omukago gwa  Azimio la Umoja tebabadde na bujulizi bulaga nti akalulu tekaali ka mazima na bwenkanya n’ategeeza nti mu bujjuvu kkooti ya kufulumya ensala mu bujjuvu mu nnaku ezitasukka 21

Abawagizi ba Odinga nga bawanise ebipande Ku kkooti. Kkooti egambye nti tewali bujulizi bukakasa nti waaliwo abaayingira mu sisitiimu ne bakyusa ebyava mu kulonda so nga n’ebyava mu kulonda mu bifo eby’enjawulo bye bimu n’ebyo ebiri ku mukutu omutongole ogw’akakiiko k’ebyokulonda.

Era kkooti etegeezezza nti tewali bujulizi bulaga nti waaliwo okubba akalulu wadde obulaga nti ssentebe w’akakiiko k’ebyokulonda, aka Independent Electoral and Boundaries Commission (IEBC), Wafula Chebukati ne banne beetaba mu kubba akalulu.

Odinga eyali yawawaabira Ruto. Kkooti era etegeezezza nti terabye njawulo wakati w’obululu obuli ku mukutu ogw’awamu ogw’akakiiko k’ebyokulonda n’ebyalangirirwa, kwe kukakasa Ruto ku Bwapulezidenti.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top