Amawulire

Kkooti y’amagye e Makindye esindise Musema mu kkomera

Kkooti  y’amagye e Makindye esindise mu kkomera omujaasi w’ekitongole ekikessi ekya CMI mu nkomyo amaleyo omwaka gumu.

Pte . Humpghrey Musema nga mujaasi mukitongole kya chief taincy  of Military Intelligence CMI ng’akola mu ttabi erirwanyisa obutujju erya Counter Terroism e Mbuya mu Kampala y’akaligaddwa oluvannyuma lw’okukkiriza omusango.

Musema 28, yakkirizza nti nga August 1, 2018 ku kitebe e Mbuya yasaba era n’aweebwa oluwummula lwa nnaku 14 kyoka bwe zaggwaako teyadda ku mulimu nga bwe yali assuubirwa kyokka nga April 14 2022 Musema  yakomawo ne yeeyanjula ku mulimu oluvannyuma lw’emyaka ena era bwatyo n’aggulwako ogw’okudduka mu magye neku mulimu gwe.

Ssentebe wa kkooti ,Brig Gen. Freeman Robert Mugabe bwabadde asoma ensala lya kkooti ategeezezza nti Musema yeeneyezza ,alina famire gy’alabirira era omwaka gumu gujja kumumala. Mugabe ayongeddeko nti batoddeko emyezi ena n’enaku 22 z’amaze mu kkomera bw’atyo n’amulagira asibweyo emyezi etaano.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top