Amawulire

Charles III ye Kabaka wa Bungereza Omuggya .

Ennono ya Bungereza egamba nti amangu ddala nga Nnaabakyala oba Kabaka abaddeko aggye omukono mu ngabo, Nnamulondo egenderawo eri oyo abeera agirindidde era neku mulundi guno yagendeddewo ewa Prince Charles Phillip Aurthur George nafuuka Kabaka Charles III.

Wabula okusobola okukakasa nti waliwo obulombolombo bw’alina okuyitamu okusobola okutuuzibwa nga Kabaka omujjuvu.

Ono era kiri mu nnono okukkirizibwa okulonda erinnya lyagala okukozesa kwago gaalina era bwatyo nalonda erya Charles III nga aliggya mu  Charles Philip Arthur George.

King Charles III era asikidde ekitibwa kya kitaawe ekya ‘Duke of Cornwall – William and Kate’ songa mukazi we Camilla naye aweereddwa ekitiibwa kya  ‘Queen Consort’ .

Emikolo gy’okumutuuza giri mu ggiya

Charles agenda kutuuzibwa ku Nnamulondo ku Lwomukaago luno nga emikolo gigenda kubeera mu lubiri lwe St James’s e London era gujja kulemberwamu olukiiko olumutuuza (Accession Council ).

Olukiiko luno lukolebwa abamu ku babaka abagundiivu, abaliko naabo abaaliko awamu n’abakozi ba gavumenti, bakamisona awamu ne Mmeeya wa London.

Wadde ennono egamba 700 naye  omuwendo gusuubira okubeera wansi kuba ensonga eno eguddewo mangu.

Mu lukiiko luno, amawulire g’okufa kwa Nnaabakyala Elizabeth gagenda kulangirirwa ‘Lord President’ Penny Morduant era agajja kugasoma mu lwattu.

Wabeerawo okuwaayo obubaka obwebaze  Nnaabakyala n’obukulembeze obubaddeko awamu n’okuwera mu maaso ga Nnamulondo n’eri omukulembeze omuggya.

Oluvannyuma  ekirangiriro ekituuza Charles nga Kabaka kiteekebwako omukono, Ssaabaminisita ne Ssaabalabirizi wa Canterbury awamu ne ‘Lord Cansala’

Ennono eno esobola okubaako byeyongerwamu oba okutolebwamu okulaba obukulembeze obuggya.

Oluvannyuma lw’okutuukiriza obulomolombo bwonna waliwo ekondere erifuuyibwa  okulangirira Charles nga Kabaka omuggya.

Omukolo guno gugenda kukolebwa omukungu, Garter King of Arms mu Lubiri lwa St. James nga asinziira  ku kabayi akali mu maaso g’Olubiri luno.

Kuno ajja kugoberezaako ebigambo ebigamba nti, Katonda kuuma Kabaka,’era wano oluyimba lwa Bungereza luyimbibwa nebigambo byalwo byonna.

Oluvannyuma  wajja kubaawo okukuba emizinga ku Hyde Park e London era egimu gyakuva mu mpingu y’amagye ga Bungereza ag’oku mazzi era ekirangiriro kiddemu okuyita nga kiranga Charles nga Kabaka e Edinburgh, Cardiff ne Belfast.

Omukolo gw’ennyimba, n’okusoma ebyafaayo awamu nakalombolombo k’okwawula omukulembeze omuggya nga bamusiiga  amafuta agakamuddwa okuva mu bimuli awamu n’emicungwa.

Olwo Charles ajja kukuba ebirayiro nga ensi yonna eraba era wano akwasibwe omuggo awamu n’okutikkirwa engule emukakasa ku buvunaanyizibwa bw’alina nga Kabaka nemu bulabirizi bwe Canterbury.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top