Amawulire

Ensi ekungubagidde Nnaabakyala wa Bungereza

Nnaabakyala wa Bungereza, Elizabeth II yabadde akyasinze okuwangaalira ku Nnamulondo ya Bungereza okumala ebbanga eddene nga agimazeeko emyaka 70 miramba.

Nnaabakyala Elizabeth yafiiridde ku myaka 96 olunaku lw’eggulo ku Lwokuna oluvannyuma lw’okumala akaseera nga atawanyizibwa ebirwadde eby’enjawulo.

Kati mutabani we omukulu era abadde omulangira wa Wales, Charles Phillip Arthur George yalidde Nnamulondo era nafuukirawo,  King Charles III.

Bweyabadde ayogera ku njega eno, Kabaka Charles III yategeezezza  nti balina ennyike yamaanyi nga ab’olulyo olulangira.

“ Tukungubagira omukulembeze era maama omwagalwa. Okufa kwe kutukubye wala nga eggwanga awamu n’amawanga agali mu lusse olumu ne Bungereza awamu n’ensi yonna,” Bwe yagambye mu kiwandiiko ekyafulumiziddwa.

Nnaabakyala Elizabeth II yalya eng’oma  mu 1952 oluvannyuma lw’okufa kwa Kitaawe, King George VI bwatyo nakulembera Bungereza n’amawanga amalala agali mu lusse olumu ne Bungereza.

Ensi emukungubagidde

Obubaka obusaalira olulyo olulangira awamu n’ Abangereza bonna bwatandise okuyiika oluvannyuma lw’amawulire g’okufa kwe okusaasaana.

Ssaabaminisita wa Bungereza omuggya, Liz Truss yategeezezza nti kino ekikangabwa kyamanyi eri Bungereza n’ensi yonna.

Minisita omukulu owa Scotland Nicola Sturgeon yayogedde ku Nnaabakyala Elizabeth ng’omuntu abadde eky’okulabirako eri abantu ab’enjawulo.

Ssaabawandiisi w’ekibiina ky’amawanga amagatte,  António Guterres  alaze omugenzi nga bw’abadde omuntu akkiririze mu nkyukakyuka kuba yakkiriza okuwa amawanga mu Asia ne Africa obwetwaze.

Paapa Francis naye akungubagidde Nnaabakyala namusiima olw’okuteeka ettofaali eddene ku  bukulisitaayo.

Ssaabaminisita wa Canada,  Justin Trudeau ategeezezza nti bino bitalo byennyini ate Ssaabaminisita wa Australia, Anthony Albanese namwebaza olw’okukola obulungi emirimu gye n’okwagala famire ye.

Ye Ssaabaminisita wa New Zealand,  Jacinda Ardern yannyonnyodde nti Nnaabakyala Elizabeth II abalaze engeri y’okuweerezaamu n’obutava ku mulamwa.

Pulezidenti wa Amerika, Joe Biden amwongeddeko nga omuntu akoleredde ennyo ensi ye era nga abadde muntu alabibwako era alambika ensonga.

Obubaka obusaasira obulala buvudde mu ba Nnaabakyala n’abakulembeze b’ennono mu mawanga ag’enjawulo nga ku buno kuliko obwa King Felipe VI owa Spain, King Abdullah II owa Jordan, Norway’s King Harald owa Norway n’abalala.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top