Ssaabawolereza wa Buganda era Minisita owa Gavumenti ez’Ebitundu mu Bwakabaka, Owek. Christopher Bwanika, akubirizza abaddukanya amasomero okussa essira ku nnimi enzaaliranwa.
Okusaba kuno Owek. Bwanika akukoledde ku Bulange e Mmengo bw’abadde atikkula oluwalo oluleeteddwa abayizi b’amasomero agavudde mu ggombolola ya Ssaabagabo Makindye e Lufuka mu Kampala.
Owek. Bwanika essira alitadde nnyo ku masomero agasoosowaza ennimi engwira, n’abasaba okutadibya nnimi zaffe kuba ky’ekyo kye tuli era abayizi bajja kwanguwa okutegeera ebibasomesebwa singa binnyonnyolwa mu nnimu ennansi.
Ssaabawolereza asabye abayizi okukuuma empisa n’okubeera abawulize eri abo ababalambika kuba be bakulembeze ab’enkya.
Amasomero agakiise embuga kubaddeko; Mutundwe Parents Day and Boarding; St Henrys College Gangu, ne Good Hope Devine Secondary School, era nga baleese Oluwalo lwa 2,600,000/=
Abaami ba Kabaka ab’Eggombolola, Ssaabagabo Lufuka Matias Kayija, n’Omumyukawe Silvia Nabulime Ssemuyaba, beebazizza nnyo abakulira amasomero olw’okuleeta abayizi okukiika embuga ate n’okubakunga okusonda ensimbi.
Ku mukolo gwegumu, Owek. Wycliffe Lule Musoke kwasinzidde n’atuusa oluwalo lwa East Coast America; New York, New Jersey, Pennsylvania ne Delaware mu America.