Ebyobufuzi

M7 awolerezza ab’ebyokwerinda abatyoboola ebiragiro bya kkooti

Pulezidenti Yoweri  Museveni alabudde essiga eddamuzi nga gavumenti bwejja okusigala nga ezimuula  ebiragiro bya kkooti singa bibeera bikakanya embeera y’obwenkanya n’obulungi bw’abantu  abangi nga byagala okuganyula omuntu omu.

Okulabula kuno Pulezidenti Museveni yakukoledde mu Kampala bw’abadde omugenyi omukulu ku  musomo ogutekebwa buli mwaka  okujjukira Ssaabalamuzi Benedicto Kiwanuka  eyatemulwa mu September 21, 1972.

Museveni agamba nti essiga eddamuzi terisobola kwetegerera kuva ku masiga amalala aga gavumenti era bajja kusigala nga bavaayo okukuuma bannayuganda singa ebiragiro ebibeera biweereddwa bibeera nga si byabwenkanya.

Okusinziira ku Pulezidenti Museveni ennono y’essiga eddamuzi okwetengerera  erina okutunulwamu kuba abamu ku balamuzi bagivvoola nga bawa ebiragiro ebikyamu.

“Kati essiga eddamuzi lyetengerera kuva kuki? Tosobola kwetengerera kuva ku bannayuganda.  Nze ndowooza kino kyetaaga okutunulwamu, mpozzi nga twogera ku kwetengerera nga bakola obwenkanya,” Museveni bwe yannyonnyodde.

Kino kiddiridde Pulezidenti w’ekibiina ekifuga bannamateeka mu ggwanga, ‘Uganda Law Society’ Bernard Oundo okuvumirira ebitongole bya gavumenti naddala eby’ebyokwerinda okugaana okuteeka ebiragiro bya kkooti mu nkola kyagamba nti kiyingirira enfuga ey’amateeka.

Museveni ku kino yagambye nti kiva ku biragiro bya kkooti obutakwatagana nabulungi bw’abantu wadde oludda lw’ebyobufuzi.

Museveni yawadde eky’okulabirako ky’ abantu  abawerako abasengulwa ku ttaka olw’omuntu omu, kino Museveni agamba nti ababaka be mu bitundu (RDC) basobola okuyingiramu nebayimiriza ebiragiro bino.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top
// Infinite Scroll $('.infinite-content').infinitescroll({ navSelector: ".nav-links", nextSelector: ".nav-links a:first", itemSelector: ".infinite-post", loading: { msgText: "Loading more posts...", finishedMsg: "Sorry, no more posts" }, errorCallback: function(){ $(".inf-more-but").css("display", "none") } }); $(window).unbind('.infscr'); $(".inf-more-but").click(function(){ $('.infinite-content').infinitescroll('retrieve'); return false; }); if ($('.nav-links a').length) { $('.inf-more-but').css('display','inline-block'); } else { $('.inf-more-but').css('display','none'); } // The slider being synced must be initialized first $('.post-gallery-bot').flexslider({ animation: "slide", controlNav: false, animationLoop: true, slideshow: false, itemWidth: 80, itemMargin: 10, asNavFor: '.post-gallery-top' }); $('.post-gallery-top').flexslider({ animation: "fade", controlNav: false, animationLoop: true, slideshow: false, prevText: "<", nextText: ">", sync: ".post-gallery-bot" }); });