Okusika omugwa kweyongedde mu kibiina ekirwanirira eddembe ly’abakozi ekya National Organisation of Trade Unions [NÓTU], ssentebe w’ekibiina kino Usher Wilson Owere asazeewo okuddukira mu kooti okusazaamu okulondebwa kwa Steven Mugole nga ssentebe w’ekibiina ow’emiseera
Abamu ku bakulira ekibiina abaatudde ku hotel Africana mu Kampala, basazeewo okuggya obwesige mu ssentebe Usher Wilson Owere.
Usher Wilson Owere awakanyizza okulondebwa kwa Mugole kwagambye nti tekwagoberedde mateeka agalambika okulondebwa kwa ssentebe we kibiina kyabwe, wadde okulungamizibwa kooti ne ministry yeekikula ky’abantu.
Wabula Steven Mugole ategezezza nti okulondebwa kukoleddwa mu mateeka era nti wakukulembera NOTU okutuuka December omwaka ogujja 2023 , olukiiko olwa ttabamiruka bwelunalonda ssentebe omujjuvu.
Mu lukiiko luno waabaddewo okujuuliriza ebimu ku bifo ebibadde ebikalu olwabaabirimu okulekulira.
Richard Bigirwa ye ssaabawandiisi omuggya azze mu bigere bya Peter Werike ng’ono yoomu kubabadde ku mbiranye ne Owere
Moses Mauku alondeddwa okubeera omuwanika ng’azze mu kifo kya Egesi Steven, Barbra Badaru alondeddwa okubeera omumyuka wa Ssaabawandiisi.
Wabula newankubadde bino byakoleddwa Usher Wilson Owere, agamba nti byonna ebyakoleddwa tebyagoberedde mateeka.
Wabula ye omuteesiteesi omukulu mu ministry yeekikula ky’abantu, Aggrey Kibenge, agamba nti ministry ekiwandiiko kyeyafulumizza olunaku lwajjo kyabadde kigenderera kulungamya mukago, nti wabula abakozi basigaza eddembe lyabwe okuddukanya emirimu gy’omukago nga bagoberera enteekateeka zabwe n’okulonda abakulembeze bebaagala.