Amawulire

President Museveni alabudde bannaKampala.

Omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Tibuhaburwa Museveni, akaangudde ku doboozi n’alabula banna Kampala abagufudde omuze okunyoomola ebiragiro by’okulwanyisa Ebola, n’agamba nti bwebeteddako boolekedde okugenda ku muggalo..

President Museveni mu kwogerakwe eri eggwanga,agambye nti obunkenke bumweyongedde olw’okuba nti ebola ayingidde mu district eziwera 8 okuli Mubende, Kassanda, Kyegegwa, Bunyangabu, Kampala, Wakiso, Jinja ne Kagadi, kyokka ng’amakubo agookubulwanyisa nti gaali gamanyiddwa.

Museveni agambye nti ssinga banna Kampala, tebakomye nkola zakumenya biragiro ebyabaweebwa nabo boolekedde okukolebwako n’amaanyi, era nabalabulabula ne kunkola yokwekwata mu ngalo ekomezebwe bunnambiro.

President Museveni era alabudde abagoba ba bodaboda mu district eziri ku muggalo, nti tabakkirizangako kuweekako bantu okuggyako emigugu gyokka, okwewala okusaasanya ekirwadde kya ebola.

Akisiimbyeko amannyo ntinsinga abantu tebaawulirize biragiro byabaweebwa wakukola ekyobulabe ekisingako, era kuno agaseeko ne mmotoka ezisaabaza ebyamaguzi ebinene ebirala omuli n’emiti okukomya omuze ogwokukusa abantu mu district eziri ku muggalo.

Mu kiseera kino abantu abaakazulibwamu Ebola balo 141 bukya abalukawo mu Uganda mu october, abaakafa bali 55, abalala 73 basiibuddwa ssonga mu malwaliro basigaddeyo 13 bokka.

Waliwo abalala 4,147 abaabadde mu kalantiini, 2,784 baamazeyo ennaku zaabwe 21 ezokulondolebwa abasawo nebazuulwa nga tebalina ebola.

President Museveni asiimye abakulembeze be Mubende nti balwanye butaweera okumalawo ekirwadde, era nti batutte ekiseera nga teri muntu w’e Mubende asangiddwa na kirwadde.

Alabudde ab’e Kassanda gyagambye nti yewasinga okusaasaana obulwadde olw’okumala geyisa mu ngeri etategeerekeka.

Anokoddeyo abayisiraamu abaaziikula eyali afudde ebola, nabo ekirwadde nekibakwata era baangi baafa.

Bano abe Kassanda abalangidde n’okulonda aboludda oluvuganya government ye mu kalulu akaayita, bagambye nti tebamanyi bikolebwa

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top