Ebyobufuzi

M7 alonze abalamuzi 3 batuule mu kkooti ensukkulumu

Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni alonze abalamuzi basatu batuule mu  kkooti ensukkulumu okusobola okukendeeza ku bbula ly’ Abalamuzi ekivaako emisango okukandaalira.

Okusinziira ku kiwandiiko Pulezidenti kyasindise eri Sipiika wa Palamenti Anita Among, abalondeddwa kuliko;   Omulamuzi Christopher Madrama Izama, Stephen Musota ne Elizabeth Musoke nga bano bonna ba kkooti ensukkulumu.

Bino webijjidde nga kkooti ensukkulumu erina abalamuzi 10 bokka  wadde nga babeera beetaaga abalamuzi 7 okusalawo ku nsonga za Ssemateeka. Kati kino kitegeeza nti abalamuzi ba kkooti eno kati bali 13.

Ye munnamateeka wa Pulezidenti Museveni  abadde amuwolereza mu misango gy’ebyokulonda egiwerako era akulira ebyamateeka mu kibiina ki National Resistance Movement (NRM) era munnamateeka wa kampuni ya  Byenkya, Kihika & Co Advocates, Oscar Kihika alondeddwa okwegatta ku balamuzi ba kkooti ejulirwamu.

“Nga nkozesa obuyinza obumpeebwa nga Pulezidenti mu nnyingo 142 (1)  eya Ssemateeka wa 1995,  nga neebuuza ku kakiiko akagaba emirimu mu kitongole ekiramuzi nnonze abantu bano wamanga okuweereza mu kkooti ensukkulumu wamu ne kkooti ejulirwamu,” Museveni bwe yagambye.

Kati abalondeddwa balinze kusunsulwamu akakiiko ka Palamenti akakola ku kwekeneenya n’okukakasa abantu ababeera balondeddwa omukulembeze w’eggwanga okuweereza mu bino ebyenjawulo.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top