Amawulire

Ssaabalabirizi Kazimba asabye abakuuma ddembe okwewala okuleeta obuzibu ne nsasagge mu ggwanga

Ssaabalabirizi w’eKanisa ya Uganda Dr.Steven Kazimba Mugalu Mboowa asabye abakuuma ddembe okukomya okweyingiza mu nsonga z’abantu babulijjo, okwewala okuleeta obuzibu ne nsasagge mu ggwanga.

Agambye nti entalo z’ettaka ne bintu ebirala ezisinga okuwulirwa ensangi zino, kigambibwa nti  zirimu  bakuuma ddembe omuli  banamagye ne police.

Abasabye okussa amaanyi n’ebiseera  kukuuma abantu n’ebintu byabwe n’ensalo z’ eggwanga lyonna okutwalira awamu ,besonyiwe okweyingiza  mu ensonga za bantu babulijjjo.

Bino Dr Steven Kazimba Mugalu abibuulidde banamagye ku ttendekero lya  Uganda National Defence College erisangibwa e Njeru mu district ye Buikwe.

Abadde akulembeddemu  okusaba kw’okwebaza Katonda asobozesezza bannamagye abamu okufundikira emisomo gyabwe, ate n’okumusaba asobozesa  banamagye abagenda okutuula ebibuuzo byabwe ebyakamalirizo muttendekero eryo okubiyita obulungi.

Eyali akulira akakiiko akalwanyisa enguzi mu Maka gwobwa president aka Presidential Anti Corruption Unit Col Edith Nakalema nga yayogedde ku lwabanamagye abagenda okukola ebibuuzo ebifundikira olusoma lwabwe, agambye nti okubangulwa kwebafunye bakukukozesa okukyusa Uganda, era neyebaza President Yoweri Kaguta Museveni olwomukisa gweyabawa ogw’okwongera okusoma.

President Museveni yasindika banamagye 18 muttendekero eryo li Uganda National Defence College okwongera okubabangula mu by’obukulembeze era bamazeyo omwaka mulamba.

Abamu ku banamagye abagenda okutuula ebibuuzo byabwe ebyakamalirizo mutendekero eryo kwekuli ne yali akulira akakiiko akalwanyisa enguzi mu Maka gwobwa president aka Presidential Anti Corruption Unit Col Edith Nakalema, ne yali omwogezi wagye Brig Flavia Byekwaso n’abalala.

Okusaba Kuno kwetabiddwako omutesitesi omukulu mu ministry evunanyizibwa ku ensonga z’amawanga amalala Vincent Bagyire, Prof Barnabas Nawangwe omumyuka wa senkulu wa Makerere University, Senkulu we kitongole kye nguddo ekya Uganda National Roads Authority Allen Kagina nabalala.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top
// Infinite Scroll $('.infinite-content').infinitescroll({ navSelector: ".nav-links", nextSelector: ".nav-links a:first", itemSelector: ".infinite-post", loading: { msgText: "Loading more posts...", finishedMsg: "Sorry, no more posts" }, errorCallback: function(){ $(".inf-more-but").css("display", "none") } }); $(window).unbind('.infscr'); $(".inf-more-but").click(function(){ $('.infinite-content').infinitescroll('retrieve'); return false; }); if ($('.nav-links a').length) { $('.inf-more-but').css('display','inline-block'); } else { $('.inf-more-but').css('display','none'); } // The slider being synced must be initialized first $('.post-gallery-bot').flexslider({ animation: "slide", controlNav: false, animationLoop: true, slideshow: false, itemWidth: 80, itemMargin: 10, asNavFor: '.post-gallery-top' }); $('.post-gallery-top').flexslider({ animation: "fade", controlNav: false, animationLoop: true, slideshow: false, prevText: "<", nextText: ">", sync: ".post-gallery-bot" }); });