Amawulire

Okugaba omusaayi mu ssaza Kabula kutandise

Enteekateeka y’okugaba omusaayi mu ssaza Kabula etandise olwaleero okutuuka ku Friday nga 09 December,2022.

Etandikidde mu ggombolola ya Ssabaddu Lyantonde ne Mumyuka Kasagama.

Enkya ku Tuesday bali mu ggombolola ya Musaale Mpumudde, ate ku Thursday badde mu ggombolola ya Ssaabagabo Kinuuka bafundikire mu Ssaabawaali Kaliro.

Enteekateeka eno ewomeddwamu omutwe ekitongole kya Kabaka Foundation, ng’eyambibwako bannamukago ab’ekitongole ekivunanyizibwa ku musaayi mu ggwanga ki Uganda Blood Transfussion services awamu ne Uganda Red Cross Society.

Omwami w’essaza Kabula Lumaama David Luyimbaazi Kiyingi  asabye banna Kabula bonna okusitukiramu okuweesa essaza obuwanguzi ng’abasaale mukutaasa obulamu bwabantu abeetaaga omusaayi, naddala nga tuli mu biseera eby’ennaku enkulu.

Ssenkulu w’ekitongole kya Kabaka Foundation omukungu Edward Kaggwa Ndagala asabye abavubuka naddala abawummuze okwenyigira obutereevu mu kaweefube ono.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top
// Infinite Scroll $('.infinite-content').infinitescroll({ navSelector: ".nav-links", nextSelector: ".nav-links a:first", itemSelector: ".infinite-post", loading: { msgText: "Loading more posts...", finishedMsg: "Sorry, no more posts" }, errorCallback: function(){ $(".inf-more-but").css("display", "none") } }); $(window).unbind('.infscr'); $(".inf-more-but").click(function(){ $('.infinite-content').infinitescroll('retrieve'); return false; }); if ($('.nav-links a').length) { $('.inf-more-but').css('display','inline-block'); } else { $('.inf-more-but').css('display','none'); } // The slider being synced must be initialized first $('.post-gallery-bot').flexslider({ animation: "slide", controlNav: false, animationLoop: true, slideshow: false, itemWidth: 80, itemMargin: 10, asNavFor: '.post-gallery-top' }); $('.post-gallery-top').flexslider({ animation: "fade", controlNav: false, animationLoop: true, slideshow: false, prevText: "<", nextText: ">", sync: ".post-gallery-bot" }); });