Kaanso ye kyengera eguddemu nabe oluvanyuma lwa meeya Walukaga Mathias okukulemberamu akakiiko ke nebeekandaga okufuluma olutuula lwa kanso nga entabwe eva ku kiwamba bantu ekisusse ensanji zino. Bano bagaamba kyekiseera gavumenti esse ensonga eziruma banauganda nga ekintu ekikulu nti era ekiwamba bantu kisaanye okukomezebwa mbagirawo
Abantu banji bazze bawambibwa ensanji zino, nga batwalibwa mu mmotoka ezaakazibwaako erya drone ate ngamayitire gaabwe negatamanyibwaako. Embeera eno kinajukirwa yeeyaviirako noomubaka wa munisipali ye mityana Francis zaake okusaba gavumenti okunyonyola kunsonga zino bweyali mu palamenti, alyooke ayimirizibwe amyuuka Spiika Thomas Tayebwa
Wakati mulutuula lwa kaanso ye kyengera, meeya Mathias Walukaga yeekandazze naafuluma olutuula lwa kaanso mukwemulugunya kunsonga ya kiwamba bantu ekisuse mu gwanga nga ensonga eno ereteddwa kansala wa Buddy central Namugera Shafik.
Meeya wa town kaanso e Kyengera Mathias Walukaga dduka e kibabu agamba nti ensonga jebaliko siyabyabufuzzi wabula batunuulidde okuyamba omuntu wa wansi nga era kino bakikozze nga akabonero akookulaga okunyolwa kwaabwe
Ono agamba ensonga eno baandibadde baakujitwaala mu palamenti wabula nti ensonga enoyatuukayo dda nga yaweebwawo omubaka mityanq Francis Zaake Butebi.
Spiika wa kanso ye kyengera Nsubuga Joseph asinzidde wano naawanjagira gavumenti okukola okunoonyereza okumala kubawambibwa era baweebeko obujuliri batwalibwe mu kooto mubutongole
Bakansala abenjawulo abagoberedde ebikolwa bya Meeya Malukaga bavumiridde ebikolwa bino nga bagamba nti ebikolwa byekiwamba bantu biyitiridde ensanji zino
Kyokka nga yadde biri bityo, waliwo abamu kubakansala abatavudde mulutuula era nga basigadde batolotooma nti balina ebyokuteesaako ebirala ebiyamba abantu bebakiikirira nga kino bakiyisizaamu amaaso
Kyokka mumbeera eno ba spiika abenjawulo okuva mukibiina ekitaba ba spiika mu buganda nga bakulembeddwa Patrick Nkugwa Mukisa ssentebe waabwe basabye kanso zona okugatta omulanga gwaabwe kunsonga eno nga embeera tenasajjuka