Amawulire

Ebikwekweto ku bavuga mmotoka nga bakozesa essimu – aba bus bakwatiddwa.

Police etandise ekikwekweto ku bagoba mmotoka abavuga nga bwebaseereza n’okwogerera ku ssimu.

Mu kikwekweto kino waliwo abagoba ba bus abakwatiddwa, okuli eya kampunibya Global ne YY.

Abakwatiddwa kuliko Tenywa Phillip ne Fikiri Brown Joseph.

Tenywa Phillip Ssajjabbi, abaddde avuga Bus ekubyeko abasaabaze, nga bw’aseereza essimu.

Phillip Ssajjabbi okukwatibwa kiddiridde omu ku basaabaze okumukwata akatambi ng’ayogerera ku ssimu nga bwavuga, era bino bibadde Matugga.

Mmotoka Ssajjabbi gyabadde avuga eri UBF 006/L ebadde eyolekera ekibuga kye Lira ng’eva Kampala.

Ssajjabbi olukwatiddwa police neyetonda olw’ekikolwa ekyobulagajjavu kyabadde akola, era naasaba aweebwe ekkibonerezo.

Fikiri Brown Joseph akwatiddwa camera zokunguudo ngayogerera ku ssimu, abadde avuga bus ya kampuni ya Global ku luguudo oluva e Kampala okudda a Masaka.

Akwatiddwa Police mu bitundu bye Kyengera.

Emma Wabwire akulira Kampuni ya Bus eya YY alabudde abagoba ba Bus Bonna abakola nga Tenywa bwakoze okweddako, awatali ekyo baakuyimirizibwa ku mirimu.

Omwogezi wa police y’ebidduka mu ggwanga Faridah Nampiima alabudde agaboba ba mmotoka bonna abakozesa amasimu nga bavuga ,okweddako bataase eggwanga ku bubenje.

Mu nnaku 12 zokka ezaakayita bukyanga mwaka guno 2023 gutandika, abantu 79 bebaakafiira mu bubenje n’abalala nkumu bali mu malwaliro bapooca.

Mu mbeera eno,amyuka ssaabaduumizi wa police Maj.Gen.Geoffrey Tumusiime Katsigazi asisinkanye abaduumizi ba police yokunguudo mu bitundu bye ggwanga ebyenjawulo, okutema empenda ku ngeri y’okulwanyisaamu obubenje ku nguudo omwaka guno 2023.

Ensisinkano eno ebadde ku kitebe kya police e Nateete.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top