Amawulire

UYD etabukidde president wa DP Nobert Mao.

Abavubuka ba musaayi muto abegattira mu kisinde kya UYD Reloaded batabukidde president wabwe mu kibiina kya Democratic Party era Minister wa ssemateeeka néssiga eddamuzi Nobert Moa bamuwadde essaawa 14 nga  ngáwaddeyo kaadi yékibiina kyabwe era abakulemebeze babwe abalala.

Mu lukungaana lwa mawulire lwebakubye ku Pope Paul, Hotel Mu Ndeeba mu Kampala, nga bakulembeddwamu   Jonah Ssemukuye akulira abavubuka ba UYD mu bitundu by’e Entebbe ng’ali wamu ne  Namirembe Angella bategezezza nti  akalembereza ke bawadde  Minister  Nobert Mao  okuzaayo kaadi ya Democratic Party  kaweddeko.

Batiisizza okweyiwa ku kitebe kya Dp ekisangibwa  ku luguudo Balintuuma e Mengo okusalawo ekiddako

Mungeri yeemu abavubaka bano bategezza nti obubonero n’ebikolwa ebikolebwa president w’e kibiina kya Dp Nobert Mao byeyoreka buterevu nti yasala dda eddiro  wadde nga  tavangayo kwasanguza.

Wabula Nobert Mao, ssenkagale wa DP era minister webyamateeka  yasinzidde ku kitebe kya DP, naagugumbula banna kibiina kya DP  abatandiise okukola obukundi kundi obwabuluza mu kibiina, yagambye nti siwakubugumiikiriza.

Abamu ku bannakibiina kya DP bazze bemulugunya ku kya Nobert Mao okukkiriza okuweereza nga minister mu government ekulemberwa ekibiina kya NRM, ate násigala ku bukulembeze bwékibiina ekiri ku ludda oluvuganya.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top
// Infinite Scroll $('.infinite-content').infinitescroll({ navSelector: ".nav-links", nextSelector: ".nav-links a:first", itemSelector: ".infinite-post", loading: { msgText: "Loading more posts...", finishedMsg: "Sorry, no more posts" }, errorCallback: function(){ $(".inf-more-but").css("display", "none") } }); $(window).unbind('.infscr'); $(".inf-more-but").click(function(){ $('.infinite-content').infinitescroll('retrieve'); return false; }); if ($('.nav-links a').length) { $('.inf-more-but').css('display','inline-block'); } else { $('.inf-more-but').css('display','none'); } // The slider being synced must be initialized first $('.post-gallery-bot').flexslider({ animation: "slide", controlNav: false, animationLoop: true, slideshow: false, itemWidth: 80, itemMargin: 10, asNavFor: '.post-gallery-top' }); $('.post-gallery-top').flexslider({ animation: "fade", controlNav: false, animationLoop: true, slideshow: false, prevText: "<", nextText: ">", sync: ".post-gallery-bot" }); });