Ekibiina ki National Unity Plattform [NUP ]kisazeewo okuwagira munnakibiina kya Alliance for National Transformation [ANTI] Alice Alaso mu kalulu k’okujuza ekifo ky’omubaka w’essaza lye Serere mu kalulu akabindabinda .
Ekifo kino kyafuuka kikalu oluvanyuma lw’eyali omubaka waayo Bishop Patrick Okabe okufiira mu Kabenje ne mukyalawe bweyali ava e Kampala ng’adda e Mbale mu mwezi gwa gwe 12 omwaka oguwedde .
Bwabadde alangirira ku kitebe ky’ekibiina eKamwokya .Omwogezi wa NUP Joel Ssenyonnyi yategezezza nti eno nkola yaabwe ya kibiina kubanga bakkiriza mu kwegatta ng’ebibiina ebivuganya gavumenti nga yensonga lwaki basazeewo bawagire Alice Alaso asobole okuwangula ekifo kino .
SSenyonnyi era yategezzezza ng’ekibiina bwekibadde n’abantu basatu ababadde baagala tikiti y’ekibiina nga basigadde kulondako omu naye bamaze dda okubakkirizisa bawagire Alaso era bakkirizza dda okubeera emabegawe .
Ono ayongerako nti sigwemulundi ogusoose ekibiina okuwagira abantu okuva mu bibiina ebirala. Wabula bazze nga bakikola n’awa eky’okulabirako ekya Soloti,Kasese, Rukiga n’ebitundu ebirala era nga ne Serere ekibiina kyakukola kyonna ekisoboka okulaba nga Alice Alaso awangula akalulu kano .