Amawulire

Katikkiro akubirizza abantu okulima emmwanyi.

Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga alambudde essaza Busiro, gy’agguliddewo gyaguliddewo omwaka gw’emmwanyi terimba 2023.

Katikkiro akubirizza abantu n’addala abakyala  okwettanira okulima emmwanyi basobole okweggya mu bwavu.

Mu bifo Katikkiro byalambudde ngali wamu ne ba minister ba Buganda abalala kubaddeko ekifo awagenda okutundirwa Kaawa mu Wakiso Town, nebalambula n’emisiri gy’emmwanyi.

Batandikidde wa mulongo Wasswa Richard mu gombolola ya Mutuba ll Kakiri ku Kyalo Kibuye,

ewa mayor we Namayumba  Kalyango Nelson Kaseenene n’ennimiro ya father Edward Ssebuliba nga zino zona zammwanyi.

Enteekateeka y’emmwanyi terimba omwaka guno essira asabye abalimi balisse ku kwegatta nga abalimi, banywe nnyo kaawa, bettanire nnyo ebyuma  mu kulima emmwanyi ebikozesa tekinologiya kibasobozese okwanguyirwa emirimu gyabwe.

Katikkiro era ayongedde nakuutira abazadde basomese abaana baabwe obukulu obuli mu kulima emmwanyi balekeraawo okubatiitibya.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top