Amawulire

Bakkansala ba KCCA batabukidde Kisaka.

Ba kkansala ku lukiiko lwa KCCA olufuga Kampala bakunyizza dayirekita,
Dorothy Kisaka ne munnamateeka w’ekitongole, Caleb Mugisha nga babasaba babawe endagaano ezaaweebwa kkampuni ezigenda okukola enguudo.

Dororthy Kisaka n’abakulira ebitongole ebikola emirimu gy’ekikugu beetabye mu kkanso eno emaze ebbanga ng’ebayita babalage lipooti ezikwata ku mirimu gye bakola.

Kkanso yabaddemu ne Loodi Mmeeya Lukwago eyagasimbaganye ne Kisaka ne munnamateeka wa KCCA Caleb Mugisha amaze ebbanga nga tebakwatagana.

Sipiika Zaharah Luyirika eyabadde akubiriza kkanso, yategeezezza nti, bamaze ebbanga nga basaba endagaano za kkampuni ezigenda okukola enguudo naye nga
Kisaka ne banne tebalabika.

Kisaka yayimuse n’ategeeza nti emirimu agikolera mu mateeka era ye si mmemba wa kkanso nti buli kiseera ateekwa okubeerawo.

Yategeezezza nti abadde akiika mu kakiiko ka Loodi Mmeeya akafuzi ng’akannyonnyola. Yagambye nti yawandiikidde Ssaabawabuzi wa Gavumenti ku nsonga z’amateeka amuluηηamye oba ddala kituufu okukwata endagaano za kkampuni
ezikola enguudo azanjulire kkanso.

Kisaka yajulizza munnamateeka w’ekitongole, Mugisha annyonnyole kkanso amateeka ku ndagaano z’amakampuni okuzanjulira olukiiko.

Mugisha yategeezezza nti waliwo ebimu ku biwandiiko ebyobwannannyini
ebitasaana kwanjulira buli muntu.

Yanokoddeyo akamu ku buwaayiro mu tteeka erifuga okugula n’okutunda ebintu bya Gavumenti [PPDA] nga kagaana okuwa abantu amawulire ku kkampuni esabye
omulimu naddala okukola enguudo nga ke kaabalemesezza okubaleetera
endagaano ezo.

Yagambye nti bakkirize okunnyonnyola kwa Kisaka nti yawandiikidde Ssaabawabuzi wa Gavumenti ku by’amateeka ng’amwebuuzaako era bw’anakkiriza agenda kubatwalira endagaano ezo.

Kino kyasaanudde bakkansala ne kinyiiza Loodi Mmeeya Erias Lukwago.
“Muyinza mutya okugamba nti waliwo ebyama bye sisobola kumanya nga nze nkulira Kampala. Ani gwemubiraga atali nze, ” Lukwago bwe yabuuzizza

Yalabudde Kisaka n’abakulira ebitongole bya KCCA eby’ekikugu nti KCCA nti basaana bakimanye nti bateekwa kukolera wamu.

Bakkansala okuli; Inocent Tegusuulwa, Moses Kataabu, John Marry Sebuwufu, Hakim Sawula n’omumyuka wa Loodi Mmeeya Doreen Nyanjura baasabye nti bateekwa okutunula mu ndagaano ezo era olukiiko lwayongezeddwaayo basobole okuwa
omukisa abakozi ku ludda lw’ekikugu bazibatwalire kimalewo olutalo.

 

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top