Bino byogeddwa Rev. Fr. Anatole Kiriggwajjo bw’abadde akulembeddemu ekitambiro kya Mmissa ku ssande ku Klezia e Kamwokya mw’abatirizza n’omwana w’Omukrstu omu amanyiddwa nga Jude Bukenya.
Fr. Kiriggwajjo agambye nti Bannayuganda abasinga baagala nnyo okwesasuza nga waliwo ababakoze obubi wabula n’abalabula nti ekyo kikyamu era Katonda takyagala.
Ono yakuutidde Abakrisitu abaabadde mu Mmisa bulijjo okusonyiwa ate n’okwerabira era mutandike okukolagana obulungi n’oyo gw’obadde onyiigidde.
Ono yabajjukiza nti Yezu bwe yali ku n’abayigirizwa be yabaakuutira obutaagala mikwano gyabwe gyokka wabula baagale n’abalabe baabwe nga kye kijja okubaawula ku bakaafiiri abaagala mikwano gyabwe gyokka ate ne bakyawa abatabaagala.
Mu ngeri y’emu yakuutidde abazadde okufuba okuyamba abaana nga babakulizza mu ddiini okulaba nga bakula nga abaana abatya Katonda era n’okukuuma ekitiibwa kye bafuna nga babatizibwa.