Omusajja akwatidde omusiguze mu nju ng’asinda omukwano ne mukyala we buli omu n’ategeezza munne nga bw’asasula enju omukyala gy’asulamu! Omusiguze poliisi emuggalidde kyokka n’ategeeza abaserikale nti naye aludde ng’asasula lenti w’enju omukyala mw’asula.
Omukazi yagambye nti okuva lwe yafiirwa omwana bba yali yavaako ku kitundu era omusiguze y’abadde agenze kumusuzaako ng’amazima tamwagala byaddala wadde nga baali baagalanyeeko kyokka bwe baafunamu obutakkaanya n’afuna omusajja omulala .
Embeera eno yawalirizza abatuuze mu Ddobi zooni e Kawempe ne babayisaamu empi nga bagamba bakooye emivuyo gyabwe kuba gye buvuddeko be bamu abaakayanira omulambo gw’omwana, ekyabawaliriza okuziika omulambo mu limbo y’e Mulago.
Jackson Wamubirigwe omusirikale w’eggye ezibizi (Reserve Force) ye yakiguddeko bwe yasanze Lameka Lule omuvuzi wa Boda Boda ng’asinda omukwano ne mukyala we Sanyu Nansubuga mu nju gy’asasula.
Wamubirigwe yayise abatuuze okwerabirako oluvannyuma obusungu yayagadde okubumalira ku pikipiki ya Lule agiteekere omuliro kyokka abatuuze ne bamulabuukirira ne bamukwata n’atwalibwa ku poliisi.
Omusiguze Lule yagambye nti yadde bamusibye naye akimanyi omwana eyaziikibwa mu limbo e Mulago yali wuwe naye olw’okuba Wamubirigwe yamusuubizza okumutta kye yava tabiremerako ng’okugenda ewa Nansubuga ye (Nansubuga) ye yamuyise n’amutegeezza nga bba (Wamubirgwe ) bwe baayawukanye ky’ataategedde nti yabadde amulimba .
Yagasseeko nti ekya Nansubuga okugabira omusajja omulala omwana we kyamuluma naye ng’omusajja yaguma ng’okudding’ana naye yabadde amanyi bajja kuzaalayo omulala kyokka ekyewuunyisa Nansubuga agamba ali lubuto lwa Wamubirigwe lwa myezi esatu!