Amawulire

Omuti gw’amasannyalaze gwelarikirizza abatuuze be’nkokonjeru.

Abantu abasoba mu 40 ku kyalo Nkokonjeru B bali mu kutya okutagambika olw’omuti gw’amasannyalaze ogwamenyeka, nga guno gutadde obulamu bwabwe mu matigga.

Bano bategeezezza nti ekizibu kino baakiroopa dda mu kitongole ekikola ku masannyalaze ekya UMEME nti wabula bano beesuulirayo gwa nnagamba nga kati basobeddwa eky’okukola.

Habert Bogeezi, ng’ono y’amyuka ssentebe w’ekitundu kino ategeezezza nti bbo ng’abakulembeze bakoze buli ekisoboka okulaba nga ng’omuti guno gukolebwaako wabula UMEME naye ng’ebabuzaabuza nti nga kati tebamanyi kiddako..

Bogezi agamba nti obwerariikirivu bwe balina ng’abakulembeze nti singa enkuba enaatandika okutonya omuti guno ne gugwa kiyinza okuviraako bangi okulusulamu obulamu bw’atyo n’asaba bekikwatako okusitukiramu.

Teddy Swanda, omu ku batuuze abaliraanye omuti guno ategeezezza nti ekisinga okubatiisa nti n’abaana baabwe bayinza okufuna obuzibu nti kuba oluusi babaleka awaka ng’obudde bwonna omuti  guno gugwa ne guleeta obuzibu.

Mathias Walukagga, mmeeya wa Kyengera agumizza abantu bano nga bw’agenda okukwatagana n’ekitongole kino ekya UMEME basobole okukola ku nsonga.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top