Amawulire

Abaana 2 abaafiiridde mu kabenje ka loole eyayingidde essomero e Gomba baziikiddwa.

Johnbosco Mawanda S.2 aziikiddwa e Nsambwe ne Evelyn Namagembe S.5 naziikibwa e Kasaka wakati mu miranga n’okwaziirana.

Okuziika Mawanda kukulembeddwamu mmisa ekulembeddwamu bwanamukulu w’ekigo ky’e Bukalagi Rev. Fr. Kiganda n’asaba abantu bonna okusabira abazadde b’abaana abaafiiridde mu kabenje.

Omulabirizi wa Central Buganda, Micheal Lubowa asinzidde mu kuziika Johnbosco Mawanda owa S.2 ev Nsambwe mu ggombolola y’e Kyegonza mu Gomba n’atendereza omugenzi olw’empisa z’abadde nazo ku ssomero.

Kyokka ono avumiridde abantu abatambuza ebigambo nga bagamba nti akabenje kaavudde ku ddogo n’asaba abazadde ba bagenzi okwesiga Mukama baleme kuwuliriza bigambo bya kweraguza.

Omubaka wa Gomba East, Godfrey Ssaazi n’omubaka wa Gombo omukazi Sylvia Nayebale bakubagizza ffamire za bazadde abaafiiriddwa abaana baabwe ne basaba Katikkiro wa Uganda, Robinah Nabbanja okudduukirira essomero lino okuzzaawo ebintu ebyayononeddwa n’ebizimbe ebyaggudde.

Ssaazi asabye be kikwatako okuteeka obugulumu buli ewali essomero okwewala obubenje obufaanana nga akabaddewo ku Lwokubiri.

Ayogedde ku lwa ffamire ya Joseph Kayongo taata w’omugenzi, Fred Mugabi ategeezezza nti omugezi abadde ayagala nnyo okusoma era nga ffamire babadde bamulinamu essuubi lingi.

Loole ekika kya Sino Truck namba UBL 790J eyabadde eva e Mityana ng’edda e Butambala yayingiridde essomero lino n’esaabala abayizi okukkakkana nga bana bafiiriddewo ate abalala 19 ne baweebwa ebitanda nga bamenyese amagulu n’okufuna ebisago ebya maanyi.

Ate lyo essomero lya Kasaka SS eryasaabaliddwa mmotoka ekika kya Sino Truck leero n’egoya abayizi liggaddwa okumala ekiseera ekitali kigere.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top