Amawulire

Abalonda kasasiro bakukkulumidde KCCA.

Abavubuka abakungaanya obucupa ne babwongerako omutindo aba Ghetto Research Lab bakukkulumidde kkampuni eziyoola kasasiro olw’okubatulugunya n’okuwamba ebikozesebwa byabwe nga bali ku mirimu, ng’ate nabo babeera ku mulamwa gumu gwa kuyonja kibuga.

Bino bibadde Bweyogerere mu lukiiko olwayitiddwa ab’ekibiina ki GAYO ekirafuubana okwongera omutindo kasasiro okusaasaana, nga lwagenderedde kutema mpenda okumalawo kasasiro wonna mu kibuga, nga lwetabiddwamu aba kkampuni eziyoola kasasiro, abamwongerako omutindo, n’ekitongole ki KCCA.

Patrick Mujuzi, akulira Ghetto Research Lab yategeezezza nti abavubuka baabwe abakungaanya obucupa ne kasasiro omulala, be baakazaako ba Kawenja bakwatibwa ab’ekitongole ki KCCA, n’aba Nabugabo nga bakola emirimu gyabwe, nga n’olumu kawuuba zaabwe ze bakozesa bazibawambako, ne baziggyako n’emipiira, nga n’olumu babakuba n’okubasiba, kye yasabye kitereezebwe.

Kyokka Bob Asiimwe, omu ku bakola ku kuyoola Kasasiro mu KCCA e Kamwokya yagambye nti olumu abakwatibwa babeera bayoola ettaka mu myala, ne balitwalira abagenda okulikozesa mu kuzimba ennyumba, nga tebamaze kwebuuza ku kitongole ku nzimba entuufu erina okugoberererwa. Yasabye abalonda obucupa nga balina ebitongole bye bakolera bafune yunifoomu ezibalaga nti bali ku mirimu mitongole, kubanga ne kampuni eziyoola kasasiro zirina abazikolera.

Ye Albert Atuhura owa Nabugabo Updeal Joint Venture,ng’eyoola kasasiro e Kamwokya yagambye nti wabeewo enkolagana ennungamu wakati wa kkampuni eziyoola kasasiro n’abalonda obucupa, waakiri babawe emirimu, nga bwe kitakolebwa kiremesa kkampuni okusolooza ssente ku bantu, kubanga abamu ku b’obucupa kasasiro bamutwalira bwereere, kyokka bwe balondamu obucupa bwe basinga okwagala, ng’asigadde bamuyiwa mu myala, ekigiviirako okuzibikira.

Isaac Ndyamuhaki, okuva mu GAYO yagambye nti bagezaako okusembeza buli gwe kikwatako ku nsonga ya kasasiro, basobole okumugattako omutindo, ng abwe bakuuma n’ekibuga nga kiyonjo

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top