Amawulire

Omukungu abadde akulira eby’amawulire ga saayansi afudde!.

John Barisigara, abadde akola nga akulira eby’amawulire ga saayansi mu minisitule ya gavumenti ez’ebitundu afudde.
Kiddiridde emmotoka gy’abaddemu ekika kya Toyota Hilux namba UBL 226D okutomeragana ne ttuleera namba KDG 699S/ZG 3664 mu kitundu ekiyitibwa Busei, ekisangibwa ku luguudo oluva e Iganga okudda e Tororo.

Faridah Nampiima ayogerera Poliisi y’ebidduka (ttulafiki) ategeezezza nti akabenje kabaddewo ku Lwokuna lwa leero, ku saawa 11 ez’olweggulo.
Ayongeddeko nti omulambo gw’omugenzi gitwaliddwa mu ddwaliro ly’e Iganga nga n’okunoonyereza kwe kavudde bwe kugenda mu maaso.


Wabula abamu ku beerabiddeko akabenje kano nga kagwawo Baategeezezza nti omugenzi abadde agezaako kwewala kutomera ttulakita ebadde ku mukono gwe ogwa ddyo bw’atyo n’asanga ttuleera ne bambalagana bwenyi ku bwenyi

 

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top