Amawulire

Abaana babiri bafudde ekiziyiro.

Poliisi etandise okunoonyereza ku ngeri abaana babiri gyebafuddemu ekiziyiro, mu Zone ya Kironde Kabowa mu gombolola ye Lubaga mu Kampala.

Kigambibwa nti abagenzi okuli Namuddu Aya ne Kawuki Arafat okufiira mu nyumba mu kiro, nnyabwe Nassazi Ziidda abadde abalese mu nnyumba n’agenda okusula mu kusaba okwenjawulo.

Kiteeberezebwa nti omuliro guno gwatandikidde mu kimu ku bisenge omubadde Omwana Sseruwaji Ashraf owemyaka 12, kyokka abatuuze oluwulidde nga gutandise nebataakirizaako kyebasobodde.

Abatuuze bakoze ekisoboka okuzikiza omuliro guno era Sseruwaji Ashraf n’ataasibwa naddusiddwa mu ddwaliro e Mulago okujjanjabwa, ate ababiri basangiddwa bafudde ekiziyiro emirambo gyabwe negitwalibwa mu ggwanika ly’eddwaliro e Mulago.

Amyuka Omwogezi wa police mu Kampala nemiriraano Luke Oweyisigire agambye waliwo ebimu ku bizibiti ebizuuliddwawo, ebigenda okuyambako poliisi mu kunoonyereza kukivuddeko omuliro.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top
// Infinite Scroll $('.infinite-content').infinitescroll({ navSelector: ".nav-links", nextSelector: ".nav-links a:first", itemSelector: ".infinite-post", loading: { msgText: "Loading more posts...", finishedMsg: "Sorry, no more posts" }, errorCallback: function(){ $(".inf-more-but").css("display", "none") } }); $(window).unbind('.infscr'); $(".inf-more-but").click(function(){ $('.infinite-content').infinitescroll('retrieve'); return false; }); if ($('.nav-links a').length) { $('.inf-more-but').css('display','inline-block'); } else { $('.inf-more-but').css('display','none'); } // The slider being synced must be initialized first $('.post-gallery-bot').flexslider({ animation: "slide", controlNav: false, animationLoop: true, slideshow: false, itemWidth: 80, itemMargin: 10, asNavFor: '.post-gallery-top' }); $('.post-gallery-top').flexslider({ animation: "fade", controlNav: false, animationLoop: true, slideshow: false, prevText: "<", nextText: ">", sync: ".post-gallery-bot" }); });