Embeera y’omubaka Allan Ssewanyana ezzaamu amaanyi leero bw’alabiseeko mu kkooti e Kololo abadde atambula bulungi wadde ng’awenyeramu katono.
Ono era abadde yeekutte mu kifuba ng’alumizibwa kyokka okusinziira ku mbeera gye yalimu emabega wadde teyava mu mmotoka kuyingira kkooti, olwaleero azzaamu essuubi nti akyuseeko.
Ssewanyana abadde akomyewo ne Ssegirinya mu kkooti okuwulira omusango gwabwe era ye Ssegirinya abadde atambula bulungi wadde nga munafumu.
Babadde mu maaso g’omulamuzi Alice Komuhangi owa kkooti ewulira emisango egiri ku mutendera gw’ensi yonna e Kolol , nga bakomyewo okuwulira ensengeka y’omusango bwenaaba, gutandike okuwulirwa.
Omulamuzi agwongezzaayo okutuusa nga April 3, okuwulira fayiro ebbiri ezaateebwayo Male Mabiriizi n’eyababaka nga basaba omusango guyimirizibwe okuwulirwa kubanga bagubassaako mu bumenyi bw’amateeka.
Komuhangi era awadde olwa April 24, okuddamu okuwulira ensengeka y’omusango nga bwe gunaatambula.
Munnamateeka ,Wilbert Muhereza ku lw’abawawabirwa abalala asabye omulamuzi omusango gutambule, ng’abawawaabirwa okuva omwaka oguwedde babaddenga basaba oludda oluwaabi okwanguya okunoonyereza kyokka bwe bamalirizza ate ba looya b’ababaka bo basaba musango gwongerweyo buli lwe bajja mu kkooti.
Muhereza agambye nti abasibe abalala bali ku limandi nga bawezezza omwaka gumu n’emyezi mwenda kyokka tebafiiriddwaako nga n’okusaba kwabwe okwekweyimirirwa tekufiibwako kyokka ng’ababaka bo baayimbulwa. Asabye kkooti guno gubeere omulundi ogusembyeyo okwongezaayo omusango.
Muhereza okwogera bino kiddiridde munnamateeka w’ababaka, Evans Ocheng okutegeeza kkooti nti si beetegefu okugenda mu maaso n’omusango ku ntegeka eri mu kkooti okusengeka engeri obujulizi gye butambula.
Omulamuzi Komuhangi akkiriziganyizza ne Muhereza.
Jackson Kanyike, John Mugerwa, Bull Wamala ne Mike Sserwadda be bakyali mu kkomera era bazziddwayo ku limandi.
Bano bavunaanibwa wamu nababaka okutta Francis Kizza, Sulaiman Kakooza, ne Tadeo Kiyimba okugezaako okutta Ronald Ssebyato ku kyalo Ssetaala mu Masaka city. Era bavunaanibwa n’emisango gy’obutujju.