Amawulire

Abasuubuzi beekengedde embeera y’okwekalakaasa e Kenya.

Abasuubuzi beekengedde embeera y’okwekalakaasa eri e Kenya ne batandika okukendeeza emirimu gy’okusuubula gye babadde bakolerayo mu kiseera kino.

Mu bamu ku basuubuzi abeekengedde embeera eno mulimu; abasuubuza kasooli mu Kisenyi n’ebitundu ebirala, ab’amagi, ebijanjaalo wamu n’ababadde basuubulayo ebintu nga; omuceere, kawo, emiyembe, obummonde,”carrot” ,ennyanya, n’ebirala.

“Tusazeewo okugira nga tuyimiriza emirimu gy’okusuubula e Kenya n’okutwalayo emmaali yaffe kubanga twekengedde okuddamu okukola loosi nga gye twakola mu 2007, oluvannyuma lw’okwekaalakaasa okwaliwo ng’okulonda kwabwe kwakaggwa” , bwatyo John Bosco Ssenyonga, omu ku basuubuzi ba kasooli n’obuwunga mu Kisenyi bw’ategeezeza,ng’ayogera ku mbeera eri e Kenya.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top