Amawulire

Min. Kitutu ow’ensonga ze Kalamoja tanazira ku mmere.

Ekitongole kyámakomera mu ggwanga kisambazze ebigambibwa nti Minister w’ensonga ze Kalamoja omusibe Mary Gorret Kitutu nti yazize emmere mu komera, ng’atya nti abaMafia bandimuteera obutwa mu byókulya.

Waliwo amawulire agabadde gayitingana nti minister okuva lweyatwalibwa e Luzira wiiki nti yagaana okulya emmere.

Wabula ekitongole kyámakomera mu ggwanga kigamba nti abogera bino bagala ,kusiiga toomi kitongole kino balowoozese nábantu nti waliwo ebintu ebikyamu ebituusibwa ku bantu nga bali mu makomera.

Frank Baine omwogezi wékitongole kyámakomera mu ggwanga agambye nti minister agoberera bulungi amateeka agafuga abasibe, era ayisibwa ng’omusibe omulala yenna,.

Wabula omubaka Richard Wanda omubaka wa Bungokho Central e Mbale agambye nti bakyetaaga obwenkanya ku muntu wabwe, bagala buli eyenyigira mu vvulugu w’okubulankanya amabaati ge Kalamoja agombebwemu obwala.

Ekyazaalira minister Marry Gorret Kitutu ebitukula ge mabaati agaali galina okuwebwa abantu be Kalamoja,  ate negasangibwa na ba minister  mu government n’abanene abalala mu ggwanga.

Minister wiiki ewedde kooti yamusindika ku alimanda mu kkomera e Luzira okutuukanga 12 April,2023 lwenakomezebwawo atandike okwewozaako.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top