Amawulire

Mpuuga mwennyamivu ku mbeera y’eddwaliro ly’e Mukono.

Akulira oludda oluvug­anya Gavumenti mu Palamenti, Mathias Mpuuga yennyamidde olw’embeera y’eddwaaliro ly’e Mukono olw’obutaba na bikoz­esebwa mu kujjanjaba abalwadde.

Ono abadde n’ababaka abalala nga balambula disitulikiti y’e Mukono okulaba empeereza y’emirimu. Baasookedde ku kitebe kya Disitulikiti, oluvannyuma ne boolekera eddwaaliro gye baas­anze ng’omutindo gwalyo guli wansi wadde nga gye buvuddeko gavumenti yalisuumusa okutuuka ku ddwaaliro eddene kyokka ebikozesebwa ebitono abasawo bye balina kivuddeko omuwendo gw’abaana abafa nga baakazaa­libwa okulinnya nga buli mwezi abaana 15 bafa nga baweere.

Ababaka okwabadde Betty Nambooze ( Mukono munisi­paali), Joyce Baagala( Bakazi Mityana), Brenda Nabukenya ( Bakazi Luweero), Abudalla Kiwanuka ( Mukono North) , Fred Kayondo (Mukono South) , Hani­fer Nabukeera (Mukazi Mukono) n’abalala baalambuziddwa akulira eddwaaliro lino, Dr. Geofrey Ka­sirye, eyategeezezza nti buli lunaku bazaalisa abakyala 30 kyokka balina ebitanda mukaaga kwe beebaka nga baakamala okuzaala ne beesanga ng’omukyala, oluzaala bamusiibula tannatereera bulungi.

Ono era omuloopedde abakyala ab’embuto abasooka mu bam­ulerwa ne babawa eddagala eryanguya okuzaala kyokka bwe babalemerera ne baddukira mu dddwaliro lino ekibaleetera abaana okubafiira munda olwo omuwendo gw’abaana abafa nga bawere ne gweyongera n’abakyala okufa oluvannyuma lw’okuzaala kuba babasiibula tebannawona bulungi.

Dr. Kasirye era yagambye nti balina nnasale mwe bakuumira abaana abazaalibwa nga teban­natuuka bbiri zokka n’ebitanda 20 byokka kwe bajjanjabira abalwadde abalina endwadde ez’enjawulo n’asaba wabeewo ekikolebwa mu bwangu.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top