Amawulire

Bannamateeka ba NUP basabye kooti omusango gw’obutujju guggalwe.

Bannamateeka abawolereza bannakibiina kya NUP 11 abali mu nkomyo ku misango gy’obutujju, basabye kkooti okugoba omusango guno, nti kubanga oludda lwa government oluwaabi lulemereddwa okuleeta obujulizi.

Abantu bano baakwatibwa mu mwezi gwa May 2023 mu bitundu bye Nabweru nga kigambibwa nti baali bateekateeka kutulisa bbomu mu Kampala.

Gyebuvuddeko kkooti ento e Nabweru yalagira Oludda oluwaabi okufundikira okunoonyereza mu musango guno, wabula munnamateeka  Sarah Namubiru ategeezezza kooti nti bakyanoonyereza.

Ensonga eno etabudde Bannamateeka babavunaanibwa okuli; Shamim Malende ne Luyimbazi Nalukoola, kwekusaba kkooti egobe omusango guno nti kubanga omuwaabi wa government ayisizza olugaayu mu kiragiro Kya kkooti eyalagira bafundikire okunoonyereza.

 

Omulamuzi Sarah Namusobya asazeewo kwongezaayo omusango guno okutuusa nga 4th July,2023.

Shamim Malende munnamateeka wabantu bano agambye nti kikyamu ekya Police okusooka okukwata abantu nga tesoose kufundikira kunoonyereza.

Munnamateeka Luyimbazi Nalukoola agambye nti bakuddukira mu kkooti etaputa semateeka okuwakanya ensonga eyokukwata abantu nga tewali bujulizi.

Erias Lukwago nga naye munnamateeka wabantu bano agambye nti kinakuwaza okulaba ngekitongole kya ssaabawaabi w’emisango gya government tekiwa kkooti kitiibwa, olw’okumenya ebiragiro ebiba biweereddwa kyokka ne kkooti nezifuuka kyesirikidde ku nsonga eno.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top