Amawulire

Poliisi e Mukono eyigga omukazi agambibwa okusalako  muganziwe ebitundu ebyekyama.

Poliisi e Mukono ebakanye n’eddimu ery’okunoonya omuwala Desire Kisaakye Nsimenta(25) agambibwa okukkakana ku muganzi we Vincent Sseguya n’amusalako obusajja okujula okubukutulako.

Bino bibadde ku kyalo Kirangira B ekisangibwa mu Ggulu ward mu Mukono municipality.

Sseguya asangiddwa mu ddwaliro lya Mukono Church of Uganda Hospital gy’afunira obujjanjabi, anyonyodde nti yabadde y’akava ku kyeyo mu gwanga lya Quatar gy’amaze emyaka etaano.

Agamba nti omuwala yali tayagalira ddala akomewo olw’ensonga z’atategeera, era nti yakola byonna okumulemesa okudda e Uganda.

Sseguya alumirizza Nsimenta nga bweyajaajaamya n’ensimbi zeyamuweerezanga ez’okuddaabiriza ennyumba z’abadde azimba.

Agambye nti negyebuvuddeko omuwala yoomu yamuteera obutwa bw’emmese mu chai nga kw’agasse n’okumulimbalimba olubuto.

Ssegula asangiddwa mu bulumi agambye nti nti ku ssaawa nga kumi n’emu ez’okumakya, Nsimenta amugwiikirizza ng’ali mu tulo otungi, n’amusala obusajja n’akambe akabadde akoogi.

Mu kulwanagana omuwala era amusaze akambe ku mukono n’amulekera ebiwundu eby’amaanyi.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top
// Infinite Scroll $('.infinite-content').infinitescroll({ navSelector: ".nav-links", nextSelector: ".nav-links a:first", itemSelector: ".infinite-post", loading: { msgText: "Loading more posts...", finishedMsg: "Sorry, no more posts" }, errorCallback: function(){ $(".inf-more-but").css("display", "none") } }); $(window).unbind('.infscr'); $(".inf-more-but").click(function(){ $('.infinite-content').infinitescroll('retrieve'); return false; }); if ($('.nav-links a').length) { $('.inf-more-but').css('display','inline-block'); } else { $('.inf-more-but').css('display','none'); } // The slider being synced must be initialized first $('.post-gallery-bot').flexslider({ animation: "slide", controlNav: false, animationLoop: true, slideshow: false, itemWidth: 80, itemMargin: 10, asNavFor: '.post-gallery-top' }); $('.post-gallery-top').flexslider({ animation: "fade", controlNav: false, animationLoop: true, slideshow: false, prevText: "<", nextText: ">", sync: ".post-gallery-bot" }); });