Irene Mulika Assistant Commissioner for Trade mu kitongole ekiwooza ky’omusolo ekya Uganda Revenue Authority agambye nti ebimu ku bizze bifiiriza eggwanga Omusolo omungi, bebantu abakukusa ebyamaguzi nebisala ensalo nebiyingira eggwanga mu bukyamu.
Muliika agambye nti URA emaze okukola entekateeka y’okugula bu Namunkanga obumanyiddwa nga Drone, obugenda okukettanga abayingiza ebyamaguzi mu bukyamu, nga babiyisa mu bakubo amakyamu, kino kisobozese government okusolooza Omusolo omungi.
Muliika abadde yeetabye mu kukubaganya ebirowoozo ku mbalirira y’amawanga g’Omukago gw’obuvanjuba bwa Africa okubadde ku Serena Hotel mu Kampala, okutegekeddwa ekitongole ekitakabanira eby’obusuubuzi mu Africa ki SEATINI Uganda.
Irene Muliika agambye nti essira balitadde kukuziba emiwaatwa egiyitibwamu kampuni n’abasuubuzi okwebalama okusasula emisolo.
Agambye nti URA yataddewo n’enkola ya ”Mpa e-receipt yange” ng’abantu bonna basanye okugigoberera, nga kampuni zikozesa receipt eziyise mu computer okuva ku z’empapula.
Mu ngeri yeemu Government ekakasizza nti yakwesonyiwa okwewola ensimbi okuva munda mu ggwanga, eziyambako okuddukanya embalirira y’eggwanga.
Ekyama kino kibotoddwa minister omubeezi ow’Ebyensimbi Henry Musaasizi.
Minister Henry Musaasizi agambye nti obukwakkulizo bungi obussibwa ku nsimbi ezeewolebwa munda mu ggwanga, nekiremesa government okutuukiriza ebiruubirirwa byayo.
Obukwakkulizo buno mulimu m obudde obutono obwokuzzaayo ensimbi, amagoba amangi n’ebirala,nti sso nga ku nsimbi eneewole okuva e Bunaayira teziriiko bukwakkulizo bungi.
Bino webijidde nga Uganda olwa leero erina amabanja ga trillion za shilling za Uganda ezisukka mu 80 ,ekiteeka ebyenfuna by’eggwanga mu matigga.