Abajaasi ba UPDF nga bali wamu n’abajaasi b’e Congo, baliko abakyala 14 abagambibwa okuba abayeekera ba ADF be bawambye mu kikwekweto ekigenda mu maaso ekya Operation Shujaa.
Okulwanagana kuno, kubadde mu kiwonvu ekimanyiddwa nga Mwalika Valley e Congo, era babiri ku bo bafunye ebisago nga kati bali mu kufuna bujjanjabi.
Omwogezi w’ekikwekweto kino, Maj Biraali Katamba, yagambye nti okufeffetta abayeekera kukyagenda mu maaso mu bibira by’e Congo era n’abalabula okwewaayo nga balamu oba baakufiirayo.
Ayongeddeko nti omu ku bakyala abaawambiddwa, munnansi wa Burundi era abadde mukyala w’omu ku baduumizi b’abayeekera ba ADF ‘Abu Wagas’ nti era obuyeekera abumazeemu emyaka etaano.
Katamba agasseeko nti bakyagenda mu maaso n’okuyigga akabinja ka Abu, akagambibwa okubeera emabega w’obulumbaganyi mwe battira abayizi b’essomero lya Lhubiriha S S nga June 16,2023 omwaka guno.