Amawulire

Besigye alabudde FDC obutategeka kulonda mu kibiina.

Eyaliko president wa FDC Rtd Col.Dr Kiiza Besigye awabudde obukulembeze obuliko okuyimiriza enteekateeka zonna ezikwata ku by’okulonda mu kibiina, okutuusa nga bagonjodde enkaayana ezimaamidde ekibiina.

Besigye asinzidde mu lukungaana lwa bannamawulire olutudde ku office ze ku Katonga, n’agamba nti singa bagenda mu maaso n’okulonda, kyandikosa FDC n’saanirawo ddala.

Agambye nti entalo zino government eri mu buyinza yesinga okuzifunamu, era nti ezivujjirira zibeerewo n’ekigendererwa eky’okwekuumira mu buyinza.

Besigye waviiriddeyo ng’abamu ku bannakibiina batudde mu nsisinkano eyenjawulo eyayiindidde ku Sharing Hall mu Kampala, nebategeeza nga bwewaliwo olukwe olukolebwa abakulu mu kibiina abakulembeddwamu ssaabawandiisi Nathan Nandala Mafaabi ne president w’ekibiina Patrick Amuriat okutunda ekibiina eri NRM.

FDC ebadde eteekateeka okulonda abakulembeze abaggya okuva ku byalo okutuuka waggulu.

Omwogezj w’ekibiina Ibrahim Ssemujju Nganda omu ku baategeka ensisinkano eno yawa eky’okulabirako eky’ensimbi ezitamanyiddwa muwendo eziteeberezebwa nti zaava mu bakulu mu government ya NRM nti zezaavugirira akalulu ka Patrick Amuriat owa FDC okuvuganya ku bwa president mu 2021.

Nganda yerayiiridde nti simwetegefu kutundibwa mu kibiina ng’endibota, n’agamba nti ebiri mu FDC bwebityo bwebyatandika mu UPC ne DP nebikomekkereza nga bikoze omukago n’ekibiina kya NRM.

Wabula Nathan Nandala ne Patrick Amuriat nabo batuuzizza olukungaana lwa bannamawulire, nebegaana ebiboogerwako, nebalumiriza Ssemujju Nganda ne banne okubeera ne kkobaane erisanyaawo FDC begatte ku kibiina kya NUP.

Nandala agambye nti Ssemujju siyasaanye okuvumirira sente FDC zeyafuna mu kalulu ka 2021, nti wakiri bandibadde ba memba ba NUP.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top