Omukulembeze weggwanga YK Museveni asuubirwa okutongoza enteekateeka y’ekibiina ky’amawanga amagatte ng’essira eriteeka ku bavubuka mu kukuza olunaku lw’abavubuka mu Ggwanga mu Disitulikiti y’e Kabale.
Kaminsona avunanyizibwa kunsonga z’abavubuka n’abaana mu minisitule y’ekikula ky’abantu, abakozi, n’enkulaakulana y’embeera z’abantu, Mondo Kyateeka, alangiridde bino mu kulambula ekifo awasuubirwa okuba omukolo.
Ebikujjuko byakubeerawo nga 12th August 2023 ku kisaawe kyessomero lya Kigezi High School mu Munisipaali y’e Kabale.
Okujaguza kw’omwaka guno kuli ku mulamwa omulamwa, “Okwanguya okuvunuka ebizibu ebyajja ne ekirwadde kya Covid-19 n’okussa mu nkola mu bujjuvu Agenda ya 2030: egamba nti obukulu bw’abavubuka okwenyigira mu kuvvuunuka okusoomoozebwa kwa ssennyiga omukambwe n’okugenda mu maaso okutuuka ku biruubirirwa by’enkulaakulana eby’omwaka 2030.
Kyateeka yategezezza nti minisitule eri muntekateeka zisembayo ezókuvaayo ne nnambika mu kusomesa abaana ebikwata ku byóbukaba kiyite Sexuality Education nga ziwedde omukulembeze weggwanga yali zitongoza.