Amawulire

Poliisi enunudde abawala 131 mu kiyumba.

Poliisi ezinzeeko ennyumba e Bwebajja mu Estate ya Akright n’enunula abawala 131 ababadde bakuumirwamu n’ekigendererwa eky’okutwalibwa ku kyeyo mu mawanga ga Buwarabu awatali kugoberera mateeka.

Ekikwekweto kino kyakoleddwa oluvannyuma lw’omu ku bawala ababadde bakuumirwa mu nnyumba okukubira Poliisi y’e Kajjansi nga yeemulugunya ku mbeera embi gye bayisibwa.

Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano Luke Owoyesigyire yagambye nti ku Lwokutaano abaserikale ku poliisi e Kajjansi olwafunye okwemulugunya basitukiddemu ne bazingako ennyumba eno ne basangamu abawala 131 nga bano baabadde batendekebwa ku mirimu gyebagenda okukola ku kyeyo wabula mu bumenyi bw’amateeka.

Yagambye nti mu kwemulugunya okwakokeddwa ku poliisi e Kajjansi omuawala eyatolose mu nnyumba eri mu kikomera yagambye nti babagyako amasimu gaabwe nga tebakkirizibwa kuwuliziganya n’abantu babwe.

Yagambye nti abaserikale baakizudde abawala bano baatwaliddwaayo amakampuni 8 n’abantu ssekinnoomu okusobola okubatendeka emirimu okuli okufuna n’okulongoosa amayumba nga bino bikolebwa mu nkukutu.

Yategeezezza nti abaserikale bakutte abamu ku babadde batendeka abawala bano emirimu okuli Rashida Namubiru ne Ranathan Hakim okusobola okubaako bye bannyonnyola ku kukuumira abawala bano mu nnyumba.

Yagasseeko nti era poliisi yakizudde nti ennyumba abawala bano mwe babadde teyawandiisibwa ate nga mu kiseera kino abaana bali mu kubonaabona nga tebalina mmere na mazzi.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top