Poliisi e Lugazi mu district y’eBuikwe ekutte abantu 6, kuliko 5 babadde beyita basirikale ab’eggye lya UPDF erya Reserve Force.
Babadde bagumbye ku ttaka erimaze ekiseera nga likaayanirwa kampuni eya Metha n’omwami Sunduy Ggiga agamba nti lyali lyakitaawe omuyindi eyadduka mu Uganda mu biseera president Idi Amini mweyafumuulira abayindi.
Abakwate kuliko Wasswa Ssegawa,Khalifa Amos,Mutabaazi Yusuf,Ganyana James Hakim,Mugaba Benya ne Yudah Tadeo nga ono agamba nti ye muvuzi wa bodaboda.
Ettaka erikayanirwa lisangibwa mu kitundu ekimanyiddwa nga Kataka okulinaana Cable e Lugazi, era nga waliwo ebikajjo bya Mentha nga wano bano webabadde bakubye enkambi.
Omwogezi wa police mu kitundu ekya Ssezibwa Helen Butoto ategezeza nti bafunye omwemulugunya okuva mu bantu nga bwewaliwo abantu abakubye enkambi mu kitundu ekyo era ng’abatuuze batya nti bandiba ab’obulabe, ekyawaliririzza police okugendayo .
Butoto agambye nti oluvanyuma lw’okukunyizibwa babategezezza nti baaleteddwa omwami Sunday Ggiga okumukuumira ettaka lye, era ng’omu ku bbo yabadde n’emmundu.
Agambye nti bagiddwayo nebatwalibwa ku kitebe kya police e Lugazi, bagenda kuggulibwako omusango gw’okweyita kyebatali, n’okusaalimbira mu ttaka eritali lyabwe nga ne Ggiga ayogerwaako bwanonyezebwa.