Amawulire

Omuchina asinze sente za mukama we mu Zzaala.

Munnansi wa China Wang Libao Jack wa myaka 36, akaligiddwa mu nkomyo yebakeyo emyaka 3, asingisiddwa gwakuddira  sente za mukamawe n’azizannyamu zzaala.

Ensimbi zeyazannyamu zzaala zaali obukadde 200 eza shilling, ne dollah za America 125,000.

Obujulizi bulaze nti nga 22 June,2023 Wang Libao Jack abadde General manager wa kampuni ya China North Machinery Company  limited, yakungaanya sente ezo okuva mu bantu kampuni beyali ebanja, n’azitwala mu kibanda kya Zzaala (Casino) azizaazeemu, wabula zonna nebazikubirayo.

Omulamuzi wa kooti ya Buganda Road  Ronald Kayizzi amuwadde ekibonerezo kyakusobwa mu nkomyo emyaka 3, ate aliwe n’ensimbi zonna obukadde bwa shs 200 ne dollah 125,000/=

Omulamuzi agambye nti ekibonerezo kyawadde Wang kyakukola ng’eky’okuyiga eri abakozi abasuula obwesige bwa bakamababwe, nebakozesa sente zabwe mi ngeri y’okuzannya zzaala nga bagenderera okwegaggawaza okw’amangu.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top
// Infinite Scroll $('.infinite-content').infinitescroll({ navSelector: ".nav-links", nextSelector: ".nav-links a:first", itemSelector: ".infinite-post", loading: { msgText: "Loading more posts...", finishedMsg: "Sorry, no more posts" }, errorCallback: function(){ $(".inf-more-but").css("display", "none") } }); $(window).unbind('.infscr'); $(".inf-more-but").click(function(){ $('.infinite-content').infinitescroll('retrieve'); return false; }); if ($('.nav-links a').length) { $('.inf-more-but').css('display','inline-block'); } else { $('.inf-more-but').css('display','none'); } // The slider being synced must be initialized first $('.post-gallery-bot').flexslider({ animation: "slide", controlNav: false, animationLoop: true, slideshow: false, itemWidth: 80, itemMargin: 10, asNavFor: '.post-gallery-top' }); $('.post-gallery-top').flexslider({ animation: "fade", controlNav: false, animationLoop: true, slideshow: false, prevText: "<", nextText: ">", sync: ".post-gallery-bot" }); });